Mu CECAFA;
Uganda –Burundi, 9.00
Bukhungu Staduim, Kakamega -Kenya
UGANDA Cranes olwa leero etandise kaweefube w’okweddiza ekikopo kya CECAFA Senior challenge Cup mu mpaka ezaatandise eggulo e Kenya.
Uganda eyambalaganye ne Burundi.
Omutendesi Moses Basena akuutidde abazannyi be obutanyooma Burundi kubanga gy'asuubira okujja ng’ebeetegekedde obulungi olw’okuba amawanga gonna gatunuulidde Uganda erabika nga yeesinga amaanyi mu kitundu ky’obuvanjuba n’amasekkati ga Africa.
Uganda eri mu kibinja B ne Burundi, South Sudan ne Ethiopia nga ttiimu bbiri ezinaakulembera ekibinja zaakweyongerayo ku luzannya lwa semi fayinolo.
Uganda ye yaakasinga okuwangula ekikopo kino emirundi emingi (14) ng’eyagala kwongera ku likodi yayo