TOP

USPA eronze ttiimu ya Rugby ku ky'omuzannyi w'omwezi

By Silvano Kibuuka

Added 4th December 2017

Bannamawulire abawandiika ag’emizannyo mu kibiina nya Uganda Sports Press Association (USPA) balonze ttiimu ya Black Pirates eya Rugby ku buzannyi bwa November.

Uspameetdec42017bukeddeweb4 703x422

Bya Silvano Kibuuka

Bannamawulire abawandiika ag’emizannyo mu kibiina nya Uganda Sports Press Association (USPA) balonze ttiimu ya Black Pirates eya Rugby ku buzannyi bwa November.

Pirates emezze omuvuzi wa mmotoka z’empaka Christalis Fitidis ku bubonero 240 – 220 nga bibadde mu lutuula lwabwe olwa buli mwezi olwa Nile Special – USPA Monthly meeting ku Imperial Royale mu Kampala.

Black Pirates esiimiddwa okusutukira mu kikopo kya Uganda Cup ng’etenderezeddwa olw’okumegga bakirimaanyi b’eggwanga mu muzannyo guno era abasinza abazannyi ku ttiimu y’eggwanga eya Hima Cement Heathens.

Mu kulonda kuno, omuzannyi omuziimbi w’emifumbi Isaac  Mubikirwa akutte kyakusatu ku bobonero 215 ate ttiimu ya University eya Uganda Marty’s University n’esiimibwa okuwangula ekikopo kya Nile Special mu mipiira gya Yunivesite.

Pulezidenti wa USPA Sabiiti Muwanga akubirizza bannamawulire bulijjo okulinnyisa omudingo nga bawandiiika ebituufu ate bakole n’okunoonyereza.

Abalabudde ku kukozesa obubi emikutu gya yintaneti nga bawanyisiganya ebigambo ebikontana n’anaddukanya emizannyo.

Abakubirizza n’okujjumbira entuula za USPA n’asuubiza nga USPA bw’etegese n’okusiima bannamawulire abasinze okukola obulungi omwaka guno nga bateekawo ebirabo bya USPA Sports Journalist Awards.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nagiriinya1nu 220x290

Eyaliko yaaya wa Nagirinya bamukutte...

ABEEBYOKWERINDA bongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abaawamba oluvannyuma ne batta omuwala Maria Nagirinya....

Shecraneswebnew 220x290

She Cranes yeetegekera za Afrika...

Ttiimu y'eggwanga eya She Cranes etandise okwetegekera empaka za Afrika ezitandika omwezi ogujja e South Afrika...

Do 220x290

Poliisi erondoola aba boda 2 abaamanya...

ABAVUNAANIBWA okuwamba n’okutta Maria Nagirinya ne Ronald Kitayimbwa poliisi ebatutte ew’omusawo okubeekebejja...

Cobapwebweb 220x290

Kiraabu COBAP ewumizza ey'e Kenya...

Kiraabu ya COBAP eraze ginnaayo okuva e Kenya nti ekyali ya bigere mu bikonde, bw'ewumizza abazannyi baayo n'ebaleka...

Nara 220x290

‘Nalaga Abamerika bannaffe be batta...

Grace Bukenya amanyiddwa nga BK akuba bulatti olwa Amerika okusitukira mu Kayihura.