TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Golola yeepikira Muhungary: ''Ng'enda kumukuba yeerabire Oluhungary atandike kwogera Lukyonkyokyonkyo”

Golola yeepikira Muhungary: ''Ng'enda kumukuba yeerabire Oluhungary atandike kwogera Lukyonkyokyonkyo”

By Musasi wa Bukedde

Added 5th December 2017

“Omuhungary muliiridde embuzi nnamba, emimmonde ne balugu era ng'enda kumubakubira yeerabire Oluhungary atandike kwogera Lukyonkyokyonkyo” Golola bweyaweze.

Golola3 703x422

Golola ng'afalaasira abawagizi be nga bw'aliiridde Omuhungary emimonde egimuwadde amaanyi okumumegga. Ekif: FRED KISEKKA.

Bya Fred Kisekka

Lwakutaano December 8; 

Moses Golola ne Janos Lakatos 

Omukubi w’ensambaggere, Moses Golola oluvudde ku bizinga gy'abadde mu kutendekebwa n'alaalika Omuhungary Janos Lakatos nga bw'agenda okumuwuttula amwogeze n’Oludica. 

Golola bino yabyogeredde yaakatuuka ku mwalo gw'e Gaba bwe yabadde ava ku bizinga by'e Koome gy'amaze omwezi mulamba mu kutendekebwa nga yeetegekera olulwana lwe olw’omusipi ne Lakatos olw’okubaawo ku Lwokutaano luno ku Club Tavan Woods e Kabuusu. 

“Omuhungary muliiridde embuzi nnamba, emimmonde ne balugu era ng'enda kumubakubira yeerabire Oluhungary atandike kwogera Lukyonkyokyonkyo” Golola bweyaweze. 

Olulwana luno luli ku mutendera gwa ‘WKF Super Middle title fight’ ng’ababiri baakuttunkira mu nnwaana eya ‘Low kick style’ mu buzito bwa kiro 79.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndege 220x290

Poliisi ekutte n'eggalira Kamagu,...

POLIISI ekutte munnamawulire Richard Kasule amanyiddwa ng’omugagga Kamagu, akolera ku Top Radio mu Kampala.

Fub1 220x290

Akulira abadiventi mu nsi yonna...

Akulira abadiventi mu nsi yonna asiimye omulimu ogukolebwa ekkanisa

Mag2 220x290

Madagasacr eyingiddewo okuttunka...

Madagasacr eyingiddewo okuttunka ne KCC

Deb1 220x290

Obuvune busubizza Sadam Jjuma ogwa...

Obuvune busubizza Sadam Jjuma ogwa Madagascar

Hob1 220x290

Villa ento efuuse kimpe nkyekubire...

Villa ento efuuse kimpe nkyekubire