TOP

Fayinolo ya Volleyball ya leero e Lugogo

By Musasi wa Bukedde

Added 6th December 2017

OLUVANNYUMA lwa ttiimu ya Vision Volleyball Camp okwenkanya obubonero ne Nkumba mu fayinolo eyasooka n’eyokubiri, leero ye fayinolo eyokusatu esalawo ani atwala empaka za National Volleyball League e Lugogo mu baami n’abakyala.

Nkumba703422 703x422

Aba Vision Volleyball Camp nga bajaganya oluvannyuma lw'okuwangula Nkumba

Bya GERALD KIKULWE

LEERO MU FAYINOLO ZA UGANDA VOLLEYBALL LEAGUE

VVC – NKUMBA (Abakyala)

Sport-S – Nemo Stars (Abaami)

OLUVANNYUMA lwa ttiimu ya Vision Volleyball Camp okwenkanya obubonero ne Nkumba mu fayinolo eyasooka n’eyokubiri, leero ye fayinolo eyokusatu esalawo ani atwala empaka za National Volleyball League e Lugogo mu baami n’abakyala.

“Sigenda kukyusa nzannya gye nzize nkozesa mu fayinolo ebbiri eziwedde wabula ng'enda kwongeramu nnyo obumanyirivu, obwongo n’okulumba Nkumba okusobola okuwangula ekikopo ky’omwaka guno,”Hanington Nsubuga atendeka VVC bwe yagambye.

“VVC ttiimu nnungi era tugiwa ekitiibwa olw’obumanyirivu naye naffe tetugenda kukkiriza kutusangulizaako ttoomi, ekikopo tukyetaaga,”Tony Lakony atendeka Nkumba bwe yaweze.

Abaami wakati wa Sport – S ne Nemo Stars nabo beeswanta nga newankubadde Sport-S eraga ng’eyawangula edda naye Nemo Stars egamba nti egenda kugiwa akaseera akazibu.

Fayinolo ezasooka

Nkumba 3-2 VVC (Abakyala)

Sport-S 1-3 NemoStars (Abaami)

Fayinolo eyokubiri

Nkumba 1-3 VVC (Abakyala)

Sport-S 3-2 Nemo Stars(Abaami)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkeesiwebusebig 220x290

Omugaso gw’okutegeka obulungi omudaala...

Entegeka y'omudaala gwo y'esalawo bakasitoma n'e ssente by'ofuna olunaku

Ashimu2webuse 220x290

Mu kukuba bbandi mwe nfuna ebisale...

Ekitone kyange kinnyambye okutuuka we nnali sisuubira mu kusoma n'okutambula mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo...

Akellofixingacarengineafterassemblingitwebuse 220x290

Omuwala akanika yingini za mmotoka...

Ono omuwala tazannya, akanika yingini ya mmotoka n'aleka kasitoma ng'amunyeenyeza mutwe. Okukanika yakuyigira ku...

Kyeyo 220x290

Abagenda ku kyeyo 54 bakwatiddwa...

MINISITULE y’ensonga z’omunda eraze Bannayuganda 54 abaakwatiddwa ku kisaawe kya Kenyatta International Airport...

Okukyala kw’ennaku zino engeri...

Ennaku zino okukyala kukyuse nnyo ng’omusajja bw’aba teyeenywezezza kuyinza okumulema.