TOP

Ab'ensambaggere bawangudde zaabu e South Sudan

By Silvano Kibuuka

Added 6th December 2017

Abazannyi; Mohammed Lukwago ne Michael Ngabo be baawangulidde Uganda emidaali nga kati balindiridde mwaka gujja okwongera okulaga kye balinawo nga be batunuulidde okudda mu bigere bya Moses Golola n’abazannyi abalala nga Ronald Mugula, Alex Masiko n’abalala.

Kickboxingbackbukedde4 703x422

Abazannyi b'ensambagere nga bazzizza bbendera e Lugogo n'okulaga emidaali gye bakwasizza omumyuka wa ssabawandiisi waNCS, David Katende (mu ssuuti). Okuva ku ddyo ye Amos Sempagala, Ivan Koleta, MIchael Ngabo omutendesi Umar Katumba ne kapiteeni Mohammed Lukwago. (ekif:Silvano Kibuuka)

Abazannyi ba Uganda babiri bawangudde emidaali gya zaabu mu mpaka z’ensambaggere ezaabadde mu ggwanga lya South Sudan ne balaga nti waliwo abagenda okusikira Moses Golola ne banne abazannyira ensimbi kati.

Ttiimu y’eggwanga eyabaddemu abazannyi bataano baabadde mu South Sudan ku nkomerero ya wiiki era bombiriri ne bawangula emidaali gya zaabu.

Abazannyi; Mohammed Lukwago ne Michael Ngabo be baawangulidde Uganda emidaali nga kati balindiridde mwaka gujja okwongera okulaga kye balinawo nga be batunuulidde okudda mu bigere bya Moses Golola n’abazannyi abalala nga Ronald Mugula, Alex Masiko n’abalala.

Ssabawandiisi w’akakiiko ka NCS David Katende Semakula asiimye ekibiina ky’ensambaggere ekya Uganda Kickboxing Federation ky’agambye nti kisinze bingi okuzza embalirira bwe kivudde mu mpaka ezaabadde e South Sudan gye baakisindika okukiikirira eggwanga ku Lwokuna oluwedde.

Bano babadde bazzizza bbendera y’eggwanga e Lugogo wamu n’okulaga emidaali gye baawangudde nga ttiimu yabaddemu abazannyi bana, babiri ne bawangula emidaali gya zaabu ate abalala ne bawangulwa.

Kapiteeni wa ttiimu eno, Mohammed Lukwago ategeezezza nti balina empaka ze batunuulidde okwetabamu e Pakistan mu January omwaka ogujja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...