TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Golola akubye Omuhungary n'asitukira mu musipi gw'ensi yonna

Golola akubye Omuhungary n'asitukira mu musipi gw'ensi yonna

By Musasi wa Bukedde

Added 9th December 2017

“Nabagambye ng'enda kumubakubira mwogeze n’Oludica, mmukubye n'atandiika n’okuyita Yesu ne yeerabiira nti Omulokozi kojja wange,”Golola bwe yeewaanye.

Moses7 703x422

BYA FRED KISEKKA ne SILVANO KIBUUKA

Ensambaggere:

Moses Golola (Ug) akubye Janos Rakatoshi (Hungary) K.O

Sharif Bukenya (Ug) akubye Abdul Kassim (Tz) 3-0

Painanto Mwesigwa akubye Ivan Magumba 3-0

Wilson Bigambwa akubye Haruna Nsubuga 3-0

Pius Ongwechan akubye Fahad Kitumba 3-0

Hamdan Turyakira akubye Ivan Musinguzi K.O

Hamza Kintu akubye Alex Sekitto K.O

Ebikonde:

John Serunjogi (Ug) akubye Patrick Amote (Ken) K.O

OMUKUBI w’ensambaggere Moses Golola akubye Omuhungary Janos Lakatos n'asitukira mu musipi gw’ensi yonna ogwa WFK Super Middle Weight title.

Ababiri bano battunkidde ku bbaala ya Tavern Woods e Kabuusu ng’eno Golola gye yakubidde Lakatos ensambaggere ezamulese ng’aboloogera ku ttaka, ekyaviriddeko ddiifiri Patrick Luwoza okuyimiriza olulwana luno mu lawundi ey’okusatu.

alt=''

 

Nga Golola bw'atajja busera yagambye nti amaze okufunira Abazungu obukodyo obugenda okubaleka nga bamwasimula bugolo kubanga babadde basusse okumukolako ejjoogo.

“Nabagambye ng'enda kumubakubira mwogeze n’Oludica, mmukubye n'atandiika n’okuyita Yesu ne yeerabiira nti Omulokozi kojja wange,”Golola bwe yeewaanye.

 

 

Golola kati awezezza ennwana 39 kw'awangudde 36 nga 13 za tonziriranga ate n'akubwaamu emirundi esatu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano 220x290

Abali ku gw’okutta Magara beeyongeddeyo...

EBY’OKUTULUGUNYA Abasiraamu abagambibwa okutta Susan Magara bikyalanda. Ensonga bazongeddeyo mu kkooti enkulu y’eba...

Bobiwine 220x290

Babakutte n'emijoozi gy'abawagizi...

Eggulo abavubuka ba DP bakwatiddwa n’emijoozi egisoba mu 500 ne giyoolebwa okumpi ne ofiisi zaabwe nga kigambibwa...

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...

Nyimba 220x290

Balaze embalirira y’ensimbi z’emisinde...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga yeebazizza minisitule y’ebyobulamu olw’okukwata obulungi ebintu Obwakabaka bye bwagiwa...