TOP

Eyali ddiifiri yeekkokkodde ogw'obutendesi

By Musasi wa Bukedde

Added 10th December 2017

EYALI ddiifiri wa Big League nga kati mutendesi wa Ntinda United FC, Peter Musoke yeekkokkodde ogw'obutendesi n'ajuliza nti waakiri ofunda n'ogw'okukommonta ffirimbi.

Ttiimuyantindautdfc 703x422

Bya GERALD KIKULWE

Egyasambiddwa mu Big League

Kireka UTD FC 0-1 Ntinda UTD FC

Nyamityobora FC 2-0 Bumate UTD

Synergy FC 0-1G.Masaka FC

Kansai Plascon 3-1 Airtel Kitara FC

Doves All Stars 2-0 Paidha Black Angel

EYALI ddiifiri wa Big League nga kati mutendesi wa Ntinda United FC, Peter Musoke yeekkokkodde ogw'obutendesi n'ajuliza nti waakiri ofunda n'ogw'okukommonta ffirimbi. 

Kino kiddiridde Ntinda okuwangula Kireka 1-0 ku Lwomukaaga mu kisaawe kya Namboole eky’ebweru nga gwe mupiira ogwokubiri okuwangulira ku bugenyi bukya sizoni eno etandika kw’egyo 12 gye basambye lawundi esooka eya Fufa Big League yonna. 

Musoke yasuulawo omulimu gw’okukomonta Ffirimbi sizoni ewedde neyeegatta ku Ntinda ng’omutendesi bwe yali ekyasambira mu Region League era n’agiyingiza Big League sizoni eno wabula entandikwa temubeeredde nyangu nga bwe yali asuubira olw’ensonga nti ebintu bingi ebyetaagisa mu kutendeka ttiimu bw’ogerageranya ku bwa ddifiri. 

“Okutendeka omupiira ssi kyangu ddala ng’abantu bwe basuubira,kyetaaga ssente nnyingi nti oluusi zino ttiimu za Big league ziba tezirina bavugirizi ng’omutendesi olina okweyiiya okutambuza abazannyi naddala mu kukyala,olina okuba omukakkamu eri abasambi kuba abamu tebasasulwa wabula byonna bigenda na kulemerako era manyi njakumalako,” bwe yagambye Musoke. 

Ramathan Ddungu ye yabateebedde nga kati Ntinda eri mu kifo kya 6 mu kibinja kya Rwenzori ng’ebuzaayo omupiira gumu okuggalawo Lawundi esooka eya sizoni eno ku lwokuna ng’ekyazizza Kira United FC abakulembedde ekibinja n’obubonero 25 ku kisaawe e Kamwokya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kazi 220x290

Eyandesa omulimu ansuddewo

NZE Mediatrice Kubwimana 28, nzaalibwa Burundi naye nga mbeera Namugongo Zooni II. Mu 2011, nafuna omulimu gw’obwayaaya...

Civil 220x290

Omukazi atagambwako yali antamizza...

ENNAKU gye ndabidde mu nsonga z’omukwano mpitirivu era nabulako katono okugwenenya.

Funa 220x290

Eyantwala ku yunivasite yanzitattana...

NZE Jennifer Alwoch 26, mbeera ku kyalo, Adyel mu Lira. Bazadde bange bampeererako okutuuka mu S6 naye ssente ezinyongerayo...

Ssenga1 220x290

Lwaki mpulira sirina maanyi ga...

SSENGA mpulira nga sirina bulungi maanyi ga kisajja. Naye bwe neegatta amaanyi ngafuna bulungi naye ndowooza nti...

Ssenga1 220x290

Ensundo ya muganzi wange entiisa...

SSENGA nnina omuwala gwe njagala naye alina ensundo empanvu ku kisambi. Mugamba agende mu ddwaaliro agamba nti...