TOP

Ddiifiri bamuggunze agakonde mu za Big League

By Musasi wa Bukedde

Added 16th December 2017

ABAWAGIZI ba Kira United FC baavudde mu mbeera ne bakuba Ddifiri Rajab Bakasambe ebikonde katono bimumize omukka omusu mu mpaka za Big League ku Lwokuna mu kisaawe e Kamwokya .

Sam3644 703x422

Ddifiri Bakasambe nga bamujja mu kisaawe okumutaasa ku bawagizi ba Kira United. EBIFAANANYI BYA GERALD KIKULWE

Bya GERALD KIKULWE
........................................................................................

Egyasambiddwa mu Big League

Ntinda UTD FC 2-1 Kira UTD FC

Simba FC 1–2 Kabale Sharp

Water FC 1 –2 Nyamityobora FC

Airtel Kitara FC 2 –0 Synergy FC

Bumate UTD FC 2–1 Kansai Plascon FC

Kyetume FC 0–1 Amuka BrightStars FC

Ndejje University FC 2–0 Kamuli Park FC

Kino kiddiridde eddenge evannyuma okuvuga nga ttiimu ya Ntinda United FC ewangudde Kira United FC ggoolo 2-1 olwo Patrick Kimuli, omumyuka w’omutendesi wa Kira  n’alumba ddiifiri mu kisaawe wakati nga bwe yeekwasa eddakiika obutaggwaayo n’abawagizi nga bwe bamugoberera era wano Bakasambe tebaamulinze kwennyonnyolako ebikonde, ensambaggere, emiggo n’amayinja ne byeyambisibwa okwanguya embeera.

Kimuli agamba nti bukya sizoni eno etandika abadde talabanga ddiifiri ng’alina oludda lw’awagira nti obwedda abazannyi ba Kira bakolebwako ebisobyo naye nga Bakasambe yeefula atabiraba kyokka ebya Ntinda nga ne bwe kibeera kitono kitya akifuuwa.

Ayongerako nti ekitundu ky'omuzannyo ekisooka yakiwunzikidde ku ddakiika 45 wabula ekyokubiri bwe yalabye Kira efunye ggoolo esooka olwo n’akiwunzikira ku ddakiika 40.

Daniel Kiyingi eyabadde kalabaalaba w’omuzannyo yagambye nti ebyo byonna abawagizi ba Kira bye baabadde bagamba bya kwekasa n'akuzibiikiriza nsonyi naye Bakasambe omupiira yagulamudde bulungi n’eddakiika zaaweddeyo wabula bagenda kuwandiikira FUFA ku nsonga enoonyereze omukyamu y’ani.

Ntinda yeefuze omupiira eddakiika 90 era obwedda abantu beebuuza Kira yafuna etya obubonero obugikuumidde ku ntikko y’ekibinja kya Rwenzori.

Ramathan Ddungu ne Nasser  Khemis be baatebedde Ntinda mu kitundu ekisooka ate Peter Musisi n’ateebera Kira.

Guno gwe mupiira ogwagaddewo Lawundi esooka eya Big League Sizoni eno nga Airtel Kitara FC yawanuddeyo Kira United ku ntikko ya Rwenzori n’obubonero 26 mipiira 12, Kira 25 mu kyokubiri ate Ntinda United n’emalira mu kyokuna n’obubonero 19.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Salawo 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Bobi Wine alaze ky’agenda okuzzaako kyokka poliisi nayo erabudde aba People Power ku kugondera amateeka. Mulimu...

Giroud2 220x290

Besiktas eswamye Giroud okumuggya...

Giroud, yali omu ku bazannyi abaayamba Bufalansa okusitukira mu World Cup mu July wabula mu Chelsea, ennamba etandika...

Herreranerojo1 220x290

Abazannyi 4 ogwa ManU ne Wolves...

Rojo tannatereera bulungi buvune wabula okudda kwa Phil Jones kwakuggumiza ManU.

Meeyassenoganomumyukawekansalakaggwangaayogeramulukiikolwampigitowncouncil 220x290

Kirumira bamubbuddemu oluguudo...

Abakiise batenderezza Kirumira omwana waabwe enzaalwa y’e Mpambire mu Mpigi Town Council okubeera omusaale mu kutunda...

Omuvubukaabaddeyefuddeomulalungalikukabangaliyapoliisiempigi 220x290

Yeefudde omulalu n’ayingira ofiisi...

Omuvubuka ono yasoose kwesuula mu kidiba ky’ebbumba mu kabuga k’e Mpigi kyokka poliisi y’e Mpigi n’emunnyululayo...