TOP

Mike Mutebi atabukidde Derrick Nsibambi

By Musasi wa Bukedde

Added 21st December 2017

Mike Mutebi atabukidde Derrick Nsibambi

Nsi1 703x422

OMUTENDESI wa KCCA FC  Mike Mutebi avudde mu  mbeera  n’akuba emmeeza
olw’omuteebi Derrick Nsibambi olw'okunyomoola amateeka ga kiraabu bwe yavudde mu mpaka za CECAFA e Kenya ku Ssande n’agaana okudda ku kiraabu mu budde era n’asuubiza okumubonereza.

Nsibambi ne banne okuli Paul Mucureezi,Timothy Awany,Muzamir Mutyaba,Allan Kateregga,Sadam Juma ,Benjamin Ochan,Isaac Muleme abaali mu CECAFA wamu ne Mustafa Kizza, Allan Okello,Julius Poloto,Muhammed Shaban abaali mu COSAFA, bonna baakomawo ku ttiimu enkeera w’olunaku lwe baava e Kenya ne Zambia wabula ye Nsibambi yakomyewo lwakusatu nga bagenda kuzannya Kirinnya Jinja SS mu Liigi ya babinywera ekyayisizza obubi omutendesi .

“Kyennyamiza nti abeeyita ba ssita mu ttiimu ate beebatalina mpisa,Derrick asobola atya okudda ku ttiimu olunaku lwe tuzannya Liigi ng’asuubira nze okumuwa omupiira? Ate n’agaana okujja gyendi okunyonnyola  wabula n’atuukirira balala,kino agenda ku kisasulira,” bwe yeecwacwanye Mutebi.

“Nsibambi abadde akola bulungi lwakuba ng’ali ne Geoffrey Sserunkuuma naye kati alowooza nti y’asinga,yeerabidde nti nina abaana abalina ennyonta bangi  ajja kumaliriza ali ku katebe,” bwe yayongeddeko.

KCCA FC yawangudde Kirinnya Jinja SS ggoolo 2-1 ezaatebeddwa eyatutte ekirabo kya FortBet eky’omusambi  w’olunaku Patrick Kaddu era obuwanguzi buno bw’atadde KCCA FC mu kifo kya kubiri n’obubonero 26 ng’ekyaza Express ku lwomukaaga.

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...