TOP

Kyanja FC etutte ekya Mulindwa Christmas Cup

By Silvano Kibuuka

Added 27th December 2017

Ttiimu ya Kyanja FC mu Mpigi esitukidde mu kikopo kya Ssekukkulu ekya Dr. Lawrence Mulindwa Cup 2017 bw’ekubye Mpigi United ggoolo 5-4 mu peneti oluvannyuma lw’okulemagana 1-1 ku kisaawe ky'e Kamengo mu Mpigi ku Boxing Day.

Mulindwacup2017kyanjawins10 703x422

Dr. Lawrence Mlindwa ng'akwasa aba Kyanja United FC ekikopo kye baawangudde ekya Ssekukkulu kye baawangudde nga Dec 26 e Kamengo. (ekif:Silvano Kibuuka)

Dr. Lawrence Mulindwa Christmas Cup Final:

Mpigi United 1 (4) – 1 (5) Kyanja FC

Ogw’abakadde:

Kanyike FC 1 (3) – 1 (2) Butoolo FC

Zino zibadde mpaka za mulundi gwa munaana nga ttiimu 17 ze zeetabye mu kikopo kino ekizannyiddwa okulama emyezi ebiri.

Kyanja FC eyakubwa Nkozi University ku fayinolo omwaka oguwedde yasoose kulemagana ne Mpigi United 1-1.

Dr. Mulindwa yakubirizza abazannyi okukuuma empisa n’agamba nti empaka zino zigatta abantu mu kitundu okuli bannabyabufuzi n’amadiini era nti ziggyeyo ebitone bya bamusaayimuto ne baddiifiri kati abalina baaji za FUFA.

Dr. Mulindwa yeegattiddwako omubaka ow’abakyala okuva mu Mpigi, Sarah Nakawunde okugabira abawanguzi ebirabo.

Kyanja yakwasiddwa ekikopo, satifikeeti, emidaali, ekikopo, ssente 4,500,000/=, ente, emijoozi n’omupiira.

Mpigi United yafunye bye bimu okuggyako ente nga ne ssente baafunye 3,500,000/=.

Mu gw’abasussa emyaka 40 ogwaggye abalabi ekifu ku maaso, Kanyike FC yakubye Butoolo FC ku peneti 3-2 oluvannyuma lw’okulemaganwa 1-1.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sinza 220x290

Katemba eyabadde mu kuziika ssemaka...

NNAAMUNGI w’omuntu yeetabye mu kuziika omugenzi Erisa Settuba eyalwanya abakazi mu kiseera bwe yali agenda okugattibwa...

Like 220x290

Minisita azzizza ab’e Gomba ku...

MINISITA w’eggwanga ow’ebyettaka Persis Namuganza azzizza abatuuze ku byalo bibiri e Kitemu ne Nkwale mu bibanja...

Kika 220x290

Lutalo ne Eddy Yawe ebyabwe babikwasizza...

ABAYIMBI okwabadde David Lutalo, Ziza Bafana, Eddy Yawe, Dr.Propa, Joseph Ngoma n’abalala beeyiye mu kkanisa ya...

F49dcef9b8834dcda63c4876eb2afb6e 220x290

Abaazikiddwa ettaka e Bududa baweze...

ETTAKA lizzeemu okubumbulukuka ku lusozi Masaaba mu disitulikiti y’e Bududa ebyalo bitaano ne bikosebwa ng’abantu...

Gofo 220x290

Kkamera gwe zaakwata ng’abba bbooda...

OMUSAJJA kkamera za poliisi e Mukono gwe zaakwata ng’abbye boodabooda mu bitundu by’e Nansana-Ganda akwatiddwa...