TOP

Bagguddewo ekisaawe kya Bayern Uganda FC

By Silvano Kibuuka

Added 2nd January 2018

Abasambi b’omupiira abatali bamu omwaka baagugguliddewo mu bbugumu mu mpaka za Bayern Uganda Gala e Munyonyo ezeetabiddwamu ttiimu 10 mu bibinja bibiri.

Bayerrnugandalaunchpitch1 703x422

Empaka mu kuggulawo Omwaka:

Bayern Uganda 4 – 2 Old School

Abategesi aba Bayern Uganda FC be basitukidde mu kikopo kino ekisoose era ng’empaka ze zigguddewo  ekisaawe kino ekizimbiddwa ku mutiindo wadde nga kitono.

Kino ky’ekisaawe eky’obwannanyini eky’ekiwempe ekyokuna mu ggwanga nga kizimbiddwa okuliraana woteeri ya Imperial Botanical e Munyonyo.

 llan ateregga ku kkono ne incan  eninde nga bajja omupiira ku musambi wa ttiimu ya ld chool mu mpaka za ayern ganda ala e unyonyo ekifilvano ibuuka Allan Kateregga (ku kkono) ne Dincan Seninde nga bajja omupiira ku musambi wa ttiimu ya Old School mu mpaka za Bayern Uganda Gala e Munyonyo. (ekif:Silvano Kibuuka)

Bayern Uganda yasoose kugyamu Uganda Breweries ku ggoolo 3-0 ku Semi ate Old School n’egyamu C- Club ku ggoolo 2-0.

Omusambi wa Cranes Luwagga Kizito ye yasitukidde mu ky’obuteebi ku ggoolo ttano nga kiu fayinolo yateebedde Bayern Uganda ggoolo bbiri nga bawangula Old School 4-2.

Akulira ekisaawe kino, Honest Kavuma yategeezezza ng’akwasa aba Bayern Uganda ekikopo nti za kusannyibwa buli olusooka omwaka okugatta abasambi n’abaagazi b’omupiira.

 ri ya mperial otanical e unyonyo
Ismail Lubega Benkete owa ttiimu ya USPA ng'agezaako okuteeba aba Bell mu mpaka za Bayern Uganda Gala e Munyonyo ku lusooka omwaka 2018. (Ekif): Silvano Kibuuka)

Agambye nti ekisaawe kino kijja kusambirwako emipiira gya Corpotate league eri amakkampuni, n’amasomero aganaayagalanga okuvuganya.

Ttiimu ezaasindanye kuliko Bayern Uganda, Star Times Uganda, Black Boys, Entebbe Corporate League ne Old School mu kibinja A.

Mu kibinja B mwabaddemu Ex-Internationals Uganda Breweries (Bell), S-Club, Uganda Sports Press Association (USPA) ne SONA Sports Home.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tembeya 220x290

Walukagga atadde akaka mu luyimba...

Nga yaakamala okugaanibwa okuyimba ku mukolo ogumu e Mpigi gyebuvuddeko, omuyimbi Mathias Walukagga embeera agiyimbyemu...

Tin1 220x290

Pressure esse abafamire babiri...

Pressure esse abafamire babiri omulundi gumu

Harvest 220x290

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito...

Amagye lwe gassa ku Mubarak akazito n'alekulira

Abetz 220x290

Abtex totya abasajja tubalina -...

POLIISI yagaana Bobi Wine okuddamu okulinnya ku siteegi. Bino byagenda okubaawo ng’abategesi b’ebivvulu, Abbey...

Kenzo 220x290

Aziz wangoba kati oyagala nkusiime...

OMUYIMBI Eddy Kenzo addizza Aziz Azion omuliro olw’okumulangira nga bwe yamuyamba n’atamusiima n’agamba nti Aziz...