TOP

Museveni awadde omutendesi wa Cranes omuggya obukodyo

By Hussein Bukenya

Added 3rd January 2018

Olwamwanjulidde omutendesi wa Cranes omuggya, Sebastien Desabre eyazze mu bigere bya Micho Sredojevic eyasuulawo ttiimu eno, Pulezidenti yamugambiddewo nti talina kutwala muzannyi yenna atali ffiiti mu mpaka za CHAN.

Dsiko0fwaaaomys 703x422

Moses Magogo pulezidenti wa FUFA ng'ali n'omutendesi wa Cranes omuggya mu maka ga Pulezidenti e Rwakitura

Yagasseeko nti omulimu gwonna okugukola obulungi omuntu alina okuba ffiiti era wano we yasiinzidde okufalaasira abazannyi ba Cranes okukola ennyo okubeera ffiiti bagende okutuuka mu mpaka za CHAN e Morocco nga tewali abawunyamu.

"Obukodyo bukulu nnyo kyokka essira musooke kulissa ku ngeri gye mugenda okubeeramu ffiiti nga mulinnya ensozi buli lwe mufunye akaseera," Museveni bwe yagambye n'annyonnyola nti kino kye kimu ku biyinza okubayamba okwekuumira ku mutindo. 

Yagasseeko nti “Okubeera fiiti kikulu nnyo mu mizannyo kuba kibayamba obutakoowa nga mutuuse mu kisaawe.

Ekyo bwe munaakimala nga muzzaako okuyiga obukodyo,” Pulezidenti bwe yategeezezza.

CRANES YASOOSE KUTENDEKEBWA

Nga tebannasitula kugenda Rwakitura, Cranes yasoose kutendekebwa mu kisaawe ky’essomero lya St. Henry's College Kitovu e Masaka.

Omutendesi yagambye abazannyi nti okugenda ewa Pulezidenti tekibaggya ku mulamwa kuba bakyalina olusozi gambalagala lwe balina okulinnya nga bazannya empaka za CHAN.

Cranes esuubirwa okusitula mu kiro kya leero okugenda e Morocco gy’egenda okukuba enkambi nga yeetegekera okuttunka mu CHAN etandika nga January 13.

Eno Cranes yakuzannyirayo emipiira ebiri egy'okwegezaamu ne Cameroon wamu ne DR Congo.

Eggulawo ne Zambia nga January 14, ezzeeko Namibia n'oluvannyuma Ivory Coast.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

T1532369262188nameafp17v73qscaled 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.