TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Museveni atadde FUFA ku nninga ku ssente z'ekung'aanya ku miryango: 'Muziteeka wa?'

Museveni atadde FUFA ku nninga ku ssente z'ekung'aanya ku miryango: 'Muziteeka wa?'

By Stephen Mayamba

Added 3rd January 2018

"Buli ttiimu lw'ebeera n'omupiira omunene mukaaba ensimbi, naye zo ssente ze musolooza ku miryango ziraga wa?" Pulezidenti Museveni bwe yabuuzizza abakungu ba FUFA abaakulembeddwa pulezidenti waayo, Moses Magogo.

Dsjuarwaaaiigzjpglarge 703x422

Pulezidenti Museveni ng'asiibula abazannyi ba Cranes oluvannyuma lw'okubasisinkana

PULEZIDENTI Yoweri Museveni atadde abakulembeze ba FUFA ku nninga bannyonnyole gye bateeka ssente ze basolooza ku miryango nga ttiimu y'eggwanga (Uganda Cranes) ezannya.

"Buli ttiimu lw'ebeera n'omupiira omunene mukaaba ensimbi, naye zo ssente ze musolooza ku miryango ziraga wa?" Pulezidenti Museveni bwe yabuuzizza abakungu ba FUFA abaakulembeddwa pulezidenti waayo, Moses Magogo.

Okusinziira ku Linda Nabusaayi, munnamawulire wa Pulezidenti, aba FUFA baajulizza NCS (akakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga) nti ensaasaanya ya ssente zino kagimanyi.

Abakungu ba FUFA, abazannyi ba Cranes, abakulembeze ba ttiimu z’eggwanga ez'okubaka eya She Cranes ne She Pearls (ey'abato) eggulo baakyalidde Pulezidenti ne mukyala we, era nga ye minisita w'Ebyemizannyo, Janet Museveni, mu maka gaabwe e Rwakitura.

Yasoose kubagabula kijjulo, n'oluvannyuma ne bawayaamu ku ngeri ebyemizannyo gye bitambulamu mu ggwanga.

NCS yakulembeddwa ssentebe Bosco Onyik. Mu nsisinkano eno, Pulezidenti yawadde FUFA akawumbi kamu okuddaabiriza bbaasi etambuza abazannyi ba Cranes, eyafuna akabenje ttiimu bwe yali eva e Soroti okumusisinkana mu December 2015.

Kuno yagasseeko n'okubasuubiza bbaasi endala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.