TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Cranes egenze Morocco okwetegekera eza CHAN

Cranes egenze Morocco okwetegekera eza CHAN

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd January 2018

OMUTENDESI wa Cranes Sebastien Desabre asunsudde abazannyi 25 b’atutte e Morocco okwetegekera empaka za CHAN 2018 ezitandika nga 13 omwezi guno mu kibuga Casablanca.

Dsndigjxcaauo 703x422

Abamu ku bazannyi 25 abasitudde okwolekera Morocco okwetegekera empaka za CHAN

Bya GERALD KIKULWE 

Leero (Lwakusatu) ku ssaawa 9 ez’emisana, ttiimu y’eggwanga The Cranes erinnye ennyonyi ya Qater Airways okwolekera  e Morocco oluvannyuma lw’omutendesi okusalako abasambi babiri  okuli; Daniel Isiagi (Proline) ne Godffrey Lwesibawa (SC Villa) okuva kw’abo 27 ababadde mu nkambi wabula nga kikyamwetaagisa okusalako abalala babiri okusigaza 23 CAF be yeetaaga ng’empaka tezinnatandika. 

Desabre agambye nti atutte abazannyi 25 okwongera okubagezesa ku mupiira gw’omukwano gwe balina  ku Lwomukaaga luno ne Congo ate n’ogwa Cameroon ku Lwokubiri lwa wiiki ejja olwo alyoke akakase ennamba entuufu gy’alina okuwaayo eri CAF. 

ABAGENZE

Mu ggoolo: Ochan Benjamin, Ismael Watenga ne Saidi Keni

Abazibizi: Nicholas Wadada, Joseph Nsubuga, Timothy Awany, Bernard Muwanga, Mustapha Mujjuzi, Aggrey Madoi, Isaac Muleme, Mustapha Kizza .

Abawuwuttanyi: Milton Karisa, Paul Mucurezi, Allan Kyambadde, Seif Batte, Rahmat Senfuka, Abubaker Kasule, Tadeo Lwanga, Moses Waisswa, Saddam Juma, Muzamil Mutyaba, Tom Masiko .

Abateebi: Shaban Muhammad, Derrick Nsibambi , Nelson Senkatuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...

Remagrad2 220x290

Rema alangiridde bw’addayo ku yunivasite...

REMA Namakula alangiridde nga bw’agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma...