Bya DEGRATIUS KIWANUKA
URA yamezze ttiimu ya Simba okuva e Tanzania ku ggoolo 1-0 mu mupiira gwe baasembye okuzannya mu kibinja. De Boss Kalama gwe baakakansa ye yabateebede ggoolo.
URA kati y'ekulebedde ekibinja A n’obubonero 10 okuva mu mipiira 4 egyazanyiddwa.
Oluzannya oludirira olwa kamalirizo lwa kuzanyibwa ku lwokusantu ate ezakamalirizo zakuzanyibwa ku ssande.
Abazannyi abaatandise:
Alionzi Nafian (G.K), Enock Kibumba, Brian Majwega, Allan Munaaba, Patrick Mbowa, Julius Mutyaba, Nicholas Kagaba, Deboss Kalama, Peter Lwasa, Moses Sseruyide, Shafik Kagimu
Abaatandikidde ku katebe:
Mathias Muwanga (G.K), Hudu Mulikyi, Steven Mpoza, Jimmy Kulaba, Denis Kamanzi, Samuel Ssekitto, Bokota Labama
Omutedensi: Paul Nkata