TOP

Cranes ekubiddwa, Desabre n’agumya abawagizi

By Musasi wa Bukedde

Added 11th January 2018

MICHO Sredojevic ng’akyali mutendesi wa Cranes, yawangula emipiira mitono nnyo egy’omukwano kyokka nga bwe gutuuka ku gwe kigendererwa ng’awangula.

Dtot4vnw0aivltpjpglarge 703x422

Mu gwazannyiddwa Congo Brazzaville 1-0 Uganda

Ssande mu za CHAN

Uganda - Zambia (4.30) ez’ekiro

MICHO Sredojevic ng’akyali mutendesi wa Cranes, yawangula emipiira mitono nnyo egy’omukwano kyokka nga bwe gutuuka ku gwe kigendererwa ng’awangula.

Akakodyo kano n’eyamuddidde mu bigere Sebastien Desabre yandiba nga k’aleese, bwe yagambye nti eky’okubulwa obuwanguzi ku Congo Brazzaville ne Guinea tekirina kumalamu Bannayuganda maanyi kuba yabadde agezesa ttiimu gy’anaatandisa mu mpaka za CHAN.

Congo, yawangudde (1-0) Desabre n’agamba nti, okuwangulwa ng’ofunye ky’oyagala kikulu nnyo.

“Omupiira guno gunnyambye okwongera okwetegereza abazannyi be nnina okutandisa ku gwa Zambia gye nzigulawo nayo era kati ttiimu ngifunye,” Desabre bwe yategeezezza.

Yagasseeko nti mu mipiira gino abazannyi be babadde bakola bulungi ennumba n’okuzibira nga kati ekibabulamu kwe kwanguya omupiira okuva ku ggoolo yaabwe okugutwala ku y’omulabe n’agumya nti Olwomukaaga we lunaatukira ajja kuba akitereezezza.

AMATIDDE SADDAM NE KYAMBADDE

Mu mupiira guno, omuwuwuttanyi wa KCCA, Saddam Juma ne Allan Kyambadde (owa SC Villa) baabadde n’omutindo mulungi era okusinziira ku gava e Morocco, Desabre b’agenda okutandikirako mu makkati. Saddam ne Kyambadde batandise emipiira gyombi.

MUTYABA YEERWANYEEKO

Omutindo omulungi omuwuwuttanyi wa KCCA, Muzamir Mutyaba gwe yayolesezza, gwamutaasizza okusalwako. Mutyaba yayingidde mu mupiira guno ng’alwana kuva mu bazannyi ababiri ababadde balina okusalwako.

Abazannyi abagenda okuzannya CHAN ye; Ismail Watenga, Benjamin Ochan, Saidi Keni, Nicholas Wadada, Joseph Nsubuga, Timothy Awany, Mustapha Mujuzi, Bernard Muwanga, Isaac Muleme, Aggrey Madoi, Milton Karisa, Paul Mucureezi, Allan Kyambadde, Seif Batte, Rahmat Senfuka, Taddeo Lwanga, Abubaker Kasule, Moses Waiswa, Saddam Juma, Muzamir Mutyaba, Mohammed Shaban, Derrick Nsibambi ne Nelson Senkatuuka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20180324at25031pm 220x290

Brig. Sabiiti awaddeyo ofiisi ya...

Brig. Sabiiti awaddeyo ofiisi ya militale eri eyamuddidde mu bigere

Wagenda1 220x290

Minisita atangaazizza ku ntegeka...

MINISITA w’eggwanga owa gavumenti z’ebitundu, Jenniffer Namuyanga atangaazizza ku ntegeka z’okugaziya Kampala asobole...

Saba 220x290

Beti Kamya ne Nambooze bayombera...

OLUTALO ku kukola ennoongosereza mu tteeka lya Kampala lulanze omubaka w’ekibuga Mukono, Betty Nambooze Bakireke...

Balo 220x290

Bye nnyimbako nnumirirwa ggwanga...

Martin Ndijjo yayogedde naye n’amubuulira by’ayimbako na lwaki oluyimba aluleese mu kiseera kino.

Mali 220x290

Langi enzirugavu gigatte n’eyaka...

LANGI enzirugavu ya nkizo kuba tetera kuboola bifo ate ng’enyumira abasinga obungi.