TOP

Tulina amaanyi okukuba Zambia - Cranes

By Musasi wa Bukedde

Added 14th January 2018

Tulina amaanyi okukuba Zambia - Cranes

Mu1 703x422

Matia Lule ng'awa Muleme ebiragiro

Leero mu za CHAN

Uganda - Zambia ssaawa 4:30 ez’ekiro

SEBASTIEN Desabre omutendesi wa Cranes omuggya leero lw’asabuukulula ettu ery’emyaka esatu ly’aleetedde Bannayuganda gy’anaamala ng’atendeka ttiimu eno. Desabre y’adidde Micho Sredojevic mu bigere ku komerero y’omwezi oguwedde. Okuviira ddala ku bazannyi, bakama be (aba FUFA), abawagizi wamu ne Gavumenti balina essuubi ddene mu mutendesi ono naddala engeri gye yasembebwa Omuzambia, Kalusha Bwalya omu ku basinga obukugu n’erinnya mu mupiira gw’Afrika.

Desabre ekigezo ekisooka akitandikidde ku Zambia eya Bwalya eyamusemba ku mulimu guno. Guno gwe mupiira ogw'ekigendererwa Desabre gw'agenda okusooka okutendeka ttiimu y’eggwanga mu byafaayo kuba abadde atendeka kiraabu bukya ayingira mulimu guno.

Uganda yeetaaga buwanguzi mu mupiira guno okwewala embeera y’obutava mu kibinja gy’ezze eberamu enfunda essatu ze badde mu mpaka zino.

Okuggyawo kino, Desabre yategeezezza nti akoze buli kisoboka okulaba nga ttiimu ye etandika n’obuwanguzi era alina essuubi nti Zambia yaakufuluma ekisaawe kya Stade de Marrakesh nga ekaaba kuba obukodyo obugikuba abulina.Desabre agamba nti, “Zambia nnungi naye tugenda kuginyigiriza tufune obuwanguzi bwe twetaaga. Tubadde n’akaseera katono okugezeserezaamu bye twagala kyokka bye tukoze bisobola okutuwa obuwanguzi,” Desabre bwe yategeezezza.

Yalagidde abazannyi okukozesa buli mukisa gwe bafuna kuba mu mpaka nga zino ttiimu ziba zeenywezezza. Yabakalaatidde okuzanya omupiira ogw’akawoowo kuba gwe guleeta amangu obuwanguzi ate nga gunyumira abalabi. ani asinze okwetegeka Cranes, enkambi yagikubye mu kibuga Rabat ekya Morocco ng’eno yazannyiddeyo emipiira ebiri omutendesi mwe yagezeserezza abazannyi.

Yalemaganye ne Guinea (1-1) ate n’ekubwa Congo Brazzaville (1-0). Mu mipiira gino, Desabre yagezesezza abazannyi ab’enjawulo ng’agamba nti anoonya ttiimu esooka era nga giwedde, yategeezezza abazannyi nti, “Kati eby’okutukuba tubyerabire kuba egyo gibadde gya kwegezaamu.

Tutandise omulimu era tulina okulaga lwaki twajja e Morocco nga bukyali,” Zambia yakoze mu ngeri y’ow’amaanyi takeera kuba e Morocco yatuuseeyo Lwakuna sso nga Cranes emazeeyo wiiki nnamba. Zambia yeegezezzaamu ne Orlando Pirates ey’e South Afrika n’ewangula (3-1). Orlando etendekebwa Micho Sredojevic eyaliko omutendesi wa Cranes.

CRANES ANES OK UWANGWANG ULA EKO EKOLE KI ? Emipiira ebiri Cranes gy’ezannye gyombi baagitebyemu nga kitegeeza nti omutendesi wadde ayagala nnyo omupiira gw’okulumba alina okulonda abazannyi abasobola okuzibira obulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera