TOP

Tito Okello ne Nsibambi bagobeddwa mu KCCA FC

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2018

OMUTENDESI wa kiraabu ya KCCA FC Mike Mutebi acwanye n’agoba abasambi babiri ababadde batandika ku ttiimu esooka olw’obunanfuusi n’okulya mu ttiimu yaabwe olukwe.

Aaaabig703422 703x422

Bya GERALD KIKULWE

Omuzibizi Isaac Muleme n’omuteebi Titto Okello be baalidde mu KCCA FC olukwe bwe baafunye ddiiru z’okugenda okuzannya ppulo wabula bwe baabadde bawaayo ebiwandiiko byabwe eri ttiimu ezaabadde zibatwala, balaze nga bwe batalina ndagaano na ttiimu yonna era bino bwe byagudde mu matu g’omutendesi Mutebi n’azikubamu ne zaaka nga yewuunya obwongo bw’abavubuka bano engeri gye bukolamu.

Mutebi okwogera bino kidiridde KCCA FC okukola amaliri ga ggoolo 2-2 ne Maroons FC mu mupiira ogw’omukwano ku lwokubiri mu kisaawe kya Star Times e Lugogo ezateebeddwa Allan Okello ne Herbert Ocayi ate Solomon Walusimbi ne Pius Obuya ne bateebera Maroons FC.

Eno ye sizoni ya Titto esoose mu KCCA FC wabula bwe yabadde awaayo empapula ezimwogerako yakozesezza za ttiimu ya Mbeya FC okuva e Tanzania Mutebi gye yamugula okulaga nti endagaano ye yaggwaako nti era takyalina ttiimu gy’azannyira wabula ababadde bamwagala okuva mu Buildcom eya Zambia bwe baategedde bino,eby’okumutwala ne babiggyamu enta.

Ate Muleme abadde agenda Misiri wabula naye yabagambye ng’endagaano ye ne KCCA FC bwe yaggwaako wabula abakungu okuva e Misiri bwe bazze okwogerako ne Mutebi beesanze ng’endagaano ye ekyaliko era nga balina okusasula KCCA FC okusazaamu endagaano era kino kyabakubye wala Muleme ne bamuvaako.

Emyaka ebiri emabega,Muleme yeecangira ku SC Villa eyamukuza okuva mu akademe n’agisuulawo ng’endagaano ekyaliko okwegatta ku KCCA FC era ensonga zatuuka mu kakiiko akakola ku nsonga z’abazannyi mu Uganda (Players Status Committee) kuba Villa yali teyagala kumuta ng’endagaano ekyaliko.

Wabula ne mu KCCA FC era akoze ekintu kye kimu.



“Kiswaza okulaba ng’abasambi be mbadde ndabamu omulamwa, emitwe gyabwe mikalu era okusinziira bwe baasazeewo okulya mu ttiimu yaabwe olukwe,nange sigenda kuddamu kubasambisa banoonye gye balaga naye nga ttiimu yonna ebatwala erina okusasulira okusazaamu endagaano zaabwe,”bwe yagambye Mutebi.



Bano kati beegasse ku Samuel Ssekamatte,Abudallah Muhammed ne Allan Oryeke abagobeddwa banoonye ekibanja awalala.



KCCA FC yaakubiru ku kimeeza kya liigi yababinywera n’obubonero 29 mu mipiira 15.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...