TOP

Omutendesi Gitta bamukalize emipiira 4

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2018

AKAKIIKO akwasisa empisa mu FUFA kakalize omutendesi Alex Gitta ku ttiimu ya Masavu FC okumala emipiira ena nga ne mukasenge abazannyi gye bambalira talinnyayo.

Alexgitta2 703x422

Gitta eyakaligiddwa emipiira ena

Bya GERALD KIKULWE

Kino kiddiridde ebbaluwa okuva ewa ddiifiri eyalamula omupiira gwa Mbarara City FC bwe yali ewangula Masavu FC ggoolo 1-0 nga 22,December omwaka oguwedde ku kisaawe kya Kakyeka, okulumiriza Gitta n’omuzannyi we Ddumba Sadala bwe baasiwuuka empisa ne bakakkana ku ba ddifiri ne babavuma n’okubalangira ebisongovu omupiira bwe gwali gugenda mu maaso ate ne bwe gwaggwa nga babalanga okubasaliriza.

Brian Ahebwa ye yateebera Mbarara City ggoolo eyavaako kaluma nywera nga kigambibwa nti yali akuumye,wabula bino FUFA teyalinze ku bimanya n’ekaliga ababiri bano obutabeera ku kisaawe nga ttiimu ya Masavu FC ezannya okumala emipiira ena egya AUPL.

Gitta awakanyizza ensalawo ya FUFA okuvaayo n’okusawo okw’ekikula bwe kiti nga tesoose kubayita benyonnyoleko nga bwe byali wabula yo n’ewuliriza ba ddifiri bokka.

“Kyewuunyisa nti FUFA eyandibadde wakati w’enjuuyi zombi yeekubira ng’ekola okusalawo era kino balina okucuusaamu kuba tekizimba mupiira gwa Uganda wabula okuguzza emabega,” bwe yeemulugunyizza Gitta.

Masavu yawunzika ekitundu ekisooka n’obubonero 14 mu kifo kya 14 wabula mu kaweefube w’okutereeza ttiimu baagobye abasambi 5 okuli; Peter Lumolo, Fred Omony, Robert Ssentongo, Charles Odeke ne Joseph Nkabirwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...