TOP

Desabre azudde abazannyi abaamukubya Zambia

By Stephen Mayamba

Added 17th January 2018

WADDE nga mu kusooka yagaanyi okunokolayo omuzannyi ssekinnoomu gw’anenya okuviirako ttiimu okuvuya mu mupiira gwa CHAN, Cranes gwe yasoose okuzannya ne Zambia, omutendesi Sebastien Desabre ategeezezza nga bw’agenda okukola enkyukyuka atuuze abazannyi abaabadde n’omutindo gw’ekibogwe.

Dttio7w4aajczb 703x422

Omutendesi Sebastien Desabre

Bya STEPHEN MAYAMBA, Marakech-Morocco

Lwakuna (ekiro) mu CHAN;

Ivory Coast - Zambia, 1:30

Uganda - Namibia, 4:30

WADDE nga mu kusooka yagaanyi okunokolayo omuzannyi ssekinnoomu gw’anenya okuviirako ttiimu okuvuya mu mupiira gwa CHAN, Cranes gwe yasoose okuzannya ne Zambia, omutendesi Sebastien Desabre ategeezezza nga bw’agenda okukola enkyukyuka atuuze abazannyi abaabadde n’omutindo gw’ekibogwe.

Uganda yakubiddwa Zambia ggoolo 3-1 mu kibinja B mu mpaka za African Nations Championships (CHAN) eziyindira e Morocco.

Kino kyagitadde mu kattu nga kati yeetaaga okugoba emipiira gyayo ebiri egisigadde bw’eba yaakuva mu kibinja mw’ekoobedde.

Zambia ne Namibia zaawangudde emipiira egyasoose. Desabre agamba nti;

“Ku mupiira gwa Namibia enkya (Lwakuna) ng’enda kukyusa amakkati kuba ge gasinga okukola obubi. Kyatukoze bubi okukubwa era ndi mukwetegereza abazannyi abatatandise ogwa Zambia ndabe abanasobola okuntaasa okufuna wiini ku Namibia.” Mutyaba ne Sadam baakutuula.

Okusinziira ku Ahmed Hussein, omwogezi wa FUFA ali ne ttiimu e Marakech tewali buvune bwonna wabula embeera ya kimpowooze ng’abazannyi tebakyayala olw’okukubwa Zambia ekiraga nti baayisiddwa bubi.

“Obutawangula Zambia kyayisizza bubi abazannyi era ne mu nkambi kyeraga. Kyokka omutendesi yayogedde nabo n’abagumya baleme kwe kubagiza,” Hussein bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, Muzamir Mutyaba ne Saddam Juma be bazannyi omutendesi kwe yasonze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

St1buk250518 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulimu ebipya ku batta abawala omuli obujulizi obubalumiriza kyokka nga butiisa.

Save 220x290

Museveni ayogedde ku bawamba abawala...

Pulezidenti agambye nti abatemu abawamba abawala ne babatta babafunzizza era gwe basembyeyo okukwata yabadde n’emirambo...

Whatsappimage20180524at20027pm 220x290

Abadde alimbalimba omuyizi wa S.4...

Emirimu gisannyaladde okumala akaseera mu ppaaka enkadde mu kibuga Kampala abagoba ba takisi abakolera ku siteegi...

Isabeti4 220x290

Yeemulugunyizza ku mutindo gwa...

OMUTEDENSI wa KIU Henry Kyobe akukkulumidde akakiiko akaddukanya omuzannyo gwa Beach Soccer olw’enzirukanya etamatiza...

Kasangati 220x290

Bawambye omuwala omulala e Kasangati...

ABAWAMBA abantu beesomye luno, bawambye omukazi omulala e Kasangati ne basaba obukadde 10, kyokka olubaweerezzaako...