TOP

Ng'enda kulwana okumalawo ekizibu ky'obutateeba - Desabre

By Stephen Mayamba

Added 20th January 2018

OMUTENDESI wa Cranes asaasidde Bannayuganda olw’ennaku gye baayiseemu okulaba nga ttiimu yaabwe ng’ewandulwa mu mpaka za CHAN ku luzannya lw’ebibinja omulundi ogwokuna ogw’omuddiring’anwa.

Dtwabebwkai2wds 703x422

Bya STEPHEN MAYAMBA E MARAKECH MOROCCO

Egyazannyiddwa mu CHAN:

Ivory Coast 0-2 Zambia

Namibia 1-0 Uganda

Uganda, yakubiddwa Namibia ggoolo 1-0 eyateebeddwa Halleluya Nekundi mu ddakiika ezongerwamu ng’e 90 kiweddeko.

Gwabadde mupiira gwakubiri mu kibinja B mu mpaka za African Nations Championships (CHAN) 2018 eziyindira e Morocco bw’etyo Uganda ne yeegatta ku Ivory Coast eyasoose okukubwa Zambia (2-0) nayo n’ewanduka.

Uganda yakubwa Zambia (3-1) mu gwasooka ate Namibia n’ekuba Ivory Coast (1-0).

Guno mulundi gwakuna ogw’omuddiring’anwa nga Uganda yeetaba mu mpaka zino ezizannyibwa abazannyi abali mu liigi z’awaka bokka wabula nga ku gyonna eremereddwa okuva mu kibinja.

‘Nnyolerwa wamu n’abawagizi baffe era omulimu omunene gwe njolekedde gwe gw’okunoonyeza ekizibu kino eddagala okulaba nga mu mpaka eziddako tukola bulungi.

Embeera yennyini eyaliwo ku mupiira gwa Zambia y’ebaddewo ne mu gwa leero ttiimu yange ezannye bulungi mu kitundu ekisooka ne yeefuga omuzannyo, emikisa egivaamu ggoolo ne tugifuna wabula ne tulemwa okugikozesa.

Namibia ekoze kimu kya kuzibira kumpi mupiira gwonna era ku mikisa emitono ennyo gye bafunye bakozesezzaako gumu okufuna ggoolo ewangudde omuzannyo,” Desabre bwe yategeezezza oluvannyuma lw’omupiira.

NNINA OMULIMU MUNENE OGW’OKUKOLA;

Yayongedde n’ategeeza nti mu kitundu ekyokubiri abateebi be baafunye emikisa ebiri egitaliiko agamba okuteeka omupiira mu katimba ne gifa ttogge ekyamulaze nti alina omulimu munene ogw’okukola naddala ku lugoba obuteebi.

“Nalaba emipiira gya Uganda egiwera okumala omwaka gumu n’ekitundu okudda emabega ku ntambi ne nkizuula nti okuteeba kye kizibu ekisinga.

Ng’enda kwongera okugoberera abazannyi be mbadde nabo kuba bano mbalabye era mmanyi buli omu obusobozi bwe wabula era ng’enda kumala budde bungi nga ndaba liigi n’okutalaaga eggwanga nnoonye abazannyi abalala nabo mbawe omukisa ndabe oba banaakola kye njagala.’

OWA NAMIBIA YEEWAANYE;

Omutendesi wa Namibia, Ricardo Giovani Manetti eyabadde omusanyufu ebitagambika yeewaanye ng’akakodyo kaabwe ak’okuzibira bwe kabaakoledde oluvannyuma lw’okukizuula nti Uganda tebagisobola.

"Uganda twakizudde ng’etusinga ate ng’etulumba nnyo kwe kulagira abazannyi bange okuzibira nga ttiimu tukole gwa kugizinduukirizanga singa tufuna omukisa wabula bwe baafunye kaadi emmyufu ne nkozesa omukisa ogwo okwongeramu omuteebi omulala Katonda n’atuyamba abaabadde bagaala akabonero ne tufuna busatu,” Manetti bwe yategeezezza.

Guno gwe mulundi gwa Namibia ogwasoose okwetaba mu mpaka za CHAN era n’eva mu kibinja.

OWA IVORY COAST YEEWEREDDE UGANDA;

Ibrahima Kamara atendeka Ivory Coast oluvannyuma lw’okukubwa Zambia ne bawanduka mu mpaka yeeweredde Uganda gye bazzaako nti bagenda kugizannya ng’eringa fayinolo waakiri badde eka n’obubonero obusatu.

‘Abazannyi bange abasinga bato era abasinga zino z’empaka zaabwe ezisooka. Tuzimba ttiimu egenda okuvuganya mu kusunsulamu eza Olympics era si babi naye be tuzannye be babadde batusinga amaanyi.

Tetukyalina kye tutaasa era mu gusembayo, tugenda kuzannya nga tulwana kutaasa ekitiibwa waakiri tugenda n’obubonero obwo tuleme kubeera ng’abajja okulambula,” Ibrahima bwe yategeezezza.

KIKI EKIRINA OKUKOLEBWA?

Singa Uganda tewangula gwa Ivory Coast, eyolekedde okuvaayo nga terina kabonero nga bwe gwali mu 2011 e Sudan bwe yavaayo ng'eteebyeyo ggoolo emu yokka.

Omutendesi Desabre alina okulwana okulaba nga ttiimu ye ewangula ogwa Ivory Coast.

Alina okulonda ttiimu erimu abazannyi abajagujagu ate nga balina sipiidi n'okusalawo amangu eky'okukola.

Ku gwa Namibia, Cranes ebadde ereka ebibangirizi binene mu kisaawe ne kiwa omulabe amaanyi okwetaaya. Kino Desabre alina okukisalira amagezi waakiri ttiimu ye eveeyo n'obubonero 3.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ddala kituufu omuyimbi Haruna Mubiru awasa balinawo?

Rolex0 220x290

Ab'e Jinja beesunga kivvulu kya...

Omanyi ekivvulu kino kye kimu ku bisinga okukwatayo mu ggwanga wabula 'Abeyidinda' baludde nga beemulugunya lwaki...

2 220x290

Aba KCCA babakuutidde okuba abalambulukufu...

Abakozi b’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuteekerateekera ekibuga Kampala ekya KCCA bakubiriziddwa okubeera abalambulukufu...