TOP

Joshua Cheptegei awangudde egy'e Spain

By Teddy Nakanjakko

Added 22nd January 2018

Joshua Cheptegei awangudde egye Spain

Tap1 703x422

BASAJJA (11.1km)

1 Joshua Cheptegei (UGA) 30:54

2 Jacob Kiplimo (UGA) 30:55

3 Selemon Barega (ETH) 31:01

4 Abadi Hadis (ETH) 31:01

5 Emmanuel Gniki (TAN) 31:08

6 Ilias Fifa (ESP) 31:39

7 Joel Ayeko (UGA) 31:48

JOSHUA Cheptegei eyawangulira Uganda omudaali gwa feeza mu mpaka z’ensi yonna, alaze foomu bw’awangudde emisinde gya IAAF Cross Country Permit ezaabadde mu kibuga Seville ekya Spain ku Ssande.

Obuwanguzi bwa Cheptegei bw’akomekkereza obujoozi bwa Selemon Barega owa Ethiopia abadde yeefuze emisinde gino nga yawangula omwaka oguwedde n’eza January 14 ezaali mu Elgoibar ekya Spain.

Cheptegei emisinde gino yagiddukidde eddakiika 30:54 bwe yeekutudde ku kibinja ky’abaddusi 11 abaabadde bakulembedde nga baakeetoloola emirundi mukaaga ku 10 era nga muno mwe mwabadde ne Bannayuganda abalala Jacob Kiplimo ne Joel Ayeko.

Kiplimo ye yasoose okuggulawo nga yeekutula ku kibinja ekinene ekyataddewo okuvuganya olwa foomu gye yayolesezza nga enzaalwa ya Ethiopia  Barega ne Hadis entuuyo bazisaza bibatu. Ekibinja kyasigaddemu abaddusi bataano era akadde k’omulundi ogusemba we kaavugidde nga bakyavuganya.  

Kilpimo ne Cheptegei beekutuddeko olwo ne batandika kuvuganya bokka na bokka, era ng’esigadde mmita 800 kyabadde ky’eraga lwatu nti Munnayuganda y’awangula naye nga tekinneeraga ani alya empanga.

Mu mmita 100, Cheptegei yakozesezza akakodyo k’okufubutuka n’awangula ng’addiriddwa Jacob Kiplimo eyawangula zaabu mu Cross country ezaali e Kololo.

“Gino gy’emisinde gye nsoose okudduka mu sizoni eno okuva mu November era nabadde sisuubira kuwangula kuba ngezaako kwongera ku mutindo gwa foomu yange.” Cheptegei bwe yategeezezza nga yaakatuuka ku kaguwa. Guno si gwe gusoose Cheptegei kwetaba mu mpaka zino ng’ogwasooka yaliyo mu 2015 bwe yakwata eky’okutaano.

Moses Kipsiro ye Munnayuganda eyali awanguddeko empaka zino nga yawangula mu 2008 ne 2009. Baabadde mu mpaka ez’omulundi ogwa 36 eza Cross Internacional de Itálica in Santiponce ku Ssande.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono