TOP

Mbarara FC ekansizza 3 okwenyweza mu liigi

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd January 2018

NGA ttiimu za liigi ya babinywera ez’enjawulo zeetegekera oluzannya olw’okubiri omwezi ogujja, Mbarara City FC esonjodde abazannyi basatu ate n’abalala basatu ssaawa yonna ekyabaperereza.

Ttiimuyambararacity 703x422

Bya GERALD KIKULWE

Owen Kasule (Soana FC) ku ndagaano ya myaka 2, Joseph Wanayita (Gormahia eya Kenya) ne James Kasibante (Sofa Paka eya Kenya) bombi ku ndagaano ya myaka 3 be beegasse ku Ankole Lions okugiyambako okumalirira mu kifo eky’okumwanjo sizoni ejja.

Omutendesi Ibrahim Kirya eyakegatta ku ttiimu eno ng’ava mu URA FC agamba nti yeetaaga abasambi 6 okugigumiza okulaba ng’ekola bulungi mu Uganda Cup ne mu liigi ya babinywera era nga kubano bagenda kwongerezaako Abdu Kareem Kasule(Express), Eddie Mubiru (eyali mu KCCA FC) ne Deo Othieno(Express).

“Okusooka nali ndowooza nti abasambi basatu bamala wabula nkizudde nti neetaaga abalala 3 oluvannyuma lwa Solomon Okwalinga okwegatta ku KCCA FC,” Kirya bwe yategeezezza.

Mbarara City leero bazannya Hoima Young FC e Hoima mu gw’omukwano oluvannyuma lw’okuwangula Mbarara FC ggoolo 6-1 ne bakuba ne Bugozi FC ggoolo 4-0 nga beetegekera Uganda Cup sizoni y’Azam Uganda Premier League.

Mbarara City FC yamazeeko ekitundu ekisooka eky’Azam Uganda Premier League ng’eri mu kifo kya 10 n’obubonero 19 mu mipiira 15.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

dith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....

Thumbnailunaiemerypoints 220x290

Martin Keown anyiizizza aba Arsenal...

Martin Keown, omu ku bazibizi abaayitimukira ennyo mu Arsenal era nga yali mu ttiimu eyawangula Premier nga tekubiddwaamu...

Gareth Bale ali ku yoleke

Gareth Bale ali mu kattu olw’abawagizi ba Real Madrid abaanyiize olw’okulaga nti ttiimu eno y’ekoobera mu bintu...