TOP

Express ezzizza Kisaaliita mu kya Bengo

By Silvano Kibuuka

Added 24th January 2018

KAWEEFUBE w'okudda ku maapu n'okuwona okusalwako mu liigi ya babinywera, Express emwongeddemu ggiya.

Wanted 703x422

Abazannyi ba Express mu kutendekebwa e Wankulukuku. Owookubiri ku kkono ye Ayub Kisaaliita.

Bya ISMAIL MULANGWA ne SILVANO KIBUUKA

Express 7-0 Wembley Boys

Yawuttudde Wembley Boys ggoolo 7-0 mu mupiira ogw'omukwano e Wankulukuku, omutendesi Shafiq Bisaso n'awaga nti, "Oluzannya olwokubiri we lunaatandikira tujja kukuba buli atusala mu maaso."

Oluzannya olusooka we lwaggweereddeko nga Express eri mu kifo kya 15 ku ttiimu 16 ezivuganya mu Azam Uganda Premier League ekireeseewo okutya mu bawagizi baayo nti yandibeera mu ttiimu essatu ezinaasalwako ku nkomerero ya sizoni.

Isaac Kisujju, eyaliko mu Maroons, yateebye ggoolo 4, Alfred Leku abadde mu Onduparaka n'anywesa bbiri ssaako Jaliru, eyali mu ttiimu y'essaza lya Bugerere n’ateebako emu.

Bisaso yagambye nti abazannyi bano ssaako Joseph Semujju, eyakomyewo okuva ku looni mu Proline, ne Ayub Kisaaliita, abadde mu SC Villa, bagenda kuggumiza ttiimu ye. Kisaaliita y'asikidde Steven Bengo, eyagobeddwa.

“ Wiiki gye mmaze nga nsunsula abazannyi empadde essuubi nti tujja kukuba abantu! Bakyabulamu obukodiyo bw’okugaba omupiira, okunyiga omulabe n’okuzibira naye oluzannya olwokubiri we lunaatuukira nga biteredde” bwe yagambye.

Yagasseeko nti tagenda kukkiriza bazannyi beesasira mu kisaawe n'agattako nti, "Bassemugayaavu beegobe nga bukyali." Emipiira 5 Bisaso gy'abadde ne Express, gyonna ekubiddwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bajjo13 220x290

Bajjo asindikiddwa Luzira.

pulomota Bajjo bamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa wiiki ejja.

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Deb2 220x290

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi...

Ebbakuli enfunda ewa omusajja amaanyi

Sab2 220x290

Yinginiya basanze afiiridde ku...

Yinginiya basanze afiiridde ku ‘sayiti’

Tip2 220x290

bakitammweEyalumbye owa difensi...

bakitammweEyalumbye owa difensi akwatiddwaBasonze