TOP

Jas Mangat awangudde ez'e Mbarara

By Nicholas Kalyango

Added 28th January 2018

Jas Mangat awangudde ez'e Mbarara

Man1 703x422

Jas Mangat

Jas Mangat 1:47:56
Christakis Fitidis 1:54:19
Susan Muwonge 1:54:29
Unissan Bakunda 2:0146
Dr. Ashraf Ahmed 2:03:27
 
NNANTAMEGGWA wa 2012, 2013 ne 2016 mu mmotoka z'empaka Jas Mangat awangudde empaka z'e mbarara n'alabula abavuzi abalala nti mwaka guno si wa kuzannyira mu mukisa gutwala ngule.
 
Mangat agoba ngule ya kuna mu byafaayo asobole okwenkana Charlie Lubega  eyaziwangula mu 2001, 2002, 2003 ne 2005. Wadde nga Mangat abadde amaze omwaka nga teyeetaba mu muzannyo, ategeezezza nti ku luno wakumalako kalenda ng'avuga era engule agyetaaga.

“Ndi musanyufu nti mbadde maze ebbanga nga sivuganya kyokka bwenkomyewo ntandikidde ku buwanguzi. Obuwanguzi bundaze nti nkyasobola okusitukira mu ngule y'omwaka singa siddiriza muliro mu mpaka eziddako.

Nja kuwaayo buli ekisoboka nsobole okusitukira mu ngule eno.” Mangat bw'agambye.
Zino empaka ze zaguddewo kalenda yomwaka guno nga nnantameggwa w’omwaka oguwedde, Christakis Fitidis amalidde mu kyakubiri n'addirirwa nnantameggwa wa 2011, Susan Muwonge era ng'empaka eziddako zigenda kubumbujjira Jinja mu wiikendi esooka oy'omwezi gwa march.

 

 
EMPAKA TEZIWEDDE MIREMBE
Wadde nga Mangat awangudde oluvannyuma lwokumalayo enkontana zonna, abavuzi abalala abaddiridde tebamazeeyo nkontana. Empaka zaabadde za kutambulira ku nkontana 10 kyokka mu lusembayo Mangat ng'amaze okuluvaamu, Adam Rauf eyabadde amuddiridde mu kusimbulwa yalemereddwa okulumalako emmotoka ye bwe yafiridde mu kkubo wakati n'eremesa endala ezandibadde zigigoberera okuyitayo.
 
Kitutte ebbanga emmotoka ya Rauf okugyibwa mu kkubo kyokka olwokuba ezaabadde zigigoberera zibadde zimaze okusimbula, abategesi basazeeyo olukontana olwo ne lusazibwamu kuba babadde tebakyalina ngeri gye babalamu budde bw'abo abasibiddwa emmotoka ya Rauf.
 
Buli muvuzi abadde mu lukontana luno ng'oggyeeko Rauf, aweereddwa obudde bwe bwebumu n'obwo Mangat bwe yakozesezza mu lukontana olwo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...

Kwiini 220x290

Nnabe agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza:...

NNABE agudde mu bwakabaka obusinga amaanyi mu nsi yonna, Kkwiini wa Bungereza bw’awummuzza mutabani we ow’ekyejo...

Kola 220x290

Museveni awabudde ku bakukusa ebyamaguzi...

PULEZIDENTI Museveni awabudde ebitongole by’omusolo ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi ebikukusibwa. Abiwadde amagezi...

Genda 220x290

King Micheal ne Big Eye bagudde...

King Micheal ne Big Eye bagudde mu bintu. Pulezidenti Museveni abawadde buli omu ente 30.

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.