TOP

Dominic Otuchet; Byalina okutereeza mu misinde

By Musasi wa Bukedde

Added 29th January 2018

By’atunuulidde mu kisa nja ekidda ko Otuchet yagambye nti; Nzikiriza tubadde n’okusoomoozebwa naddala mu byensimbi naye tuli mu kaweefube wa kulaba nga tufuna amakubo agenkalakkalirira agavaamu ssente

Otuchet1 703x422

Otuchet

Ekibiina ekiddukannya emisinde mu ggwanga ekya Uganda Athletics Federation (UAF) kyategese okulonda ku Lwomukaaga nga January 27 ne kikomyawo Dominic Otuchet ku bwapulezidenti nga tavuganyiziddwa.

OLIVIA NAKATE akukubidde ttooci mu by’akoze n’ebimulemye mu kisanja ekiyise. Otutchet yafuuka pulezidenti wa UAF mu 2010 g’asikira Daniel Tamwesigire.

Kino kisanja kye kyakubiri. By’akoze lMu 2017 mu mwezi gwa March Uganda yategeka emisinde gya ‘IAAF World Cross Country Championships’ mu kisaawe e Kololo, era gye gyasookera ddala mu byafaayo era oba oli awo bwe buwanguzi Otuchet bwasinze okutuukako mu kisanja eky’emyaka omunaana.

lOluvanyuma lw'emyaka 40 nga Uganda teroza ku mudaali gwa zaabu mu misinde, Stephen Kiprotich yaguwangula mu mizannyo gya Olympics egyali e London mu 2012. lMu August 2017, Joshua Cheptegei yawangula omudaali gwa feeza mu mpaka za World Athletics Championships mu August.

Ebigaanye Ebimu ku bisinze okwemulugunyizibwako kwe kuzza embiro ennyimpi emabega, nga kati Uganda tefunanga ku mudaali gwa zaabu okuva ku gwa Aki Bua mu 1974.

Mu August w'omwaka oguwedde, abaddusi ab'embiro zino baagenda e Bungereza nga tebalina mutendesi.

Baatwala Gordon Ahimbisibwe omutendesi w'embiro empanvu. Abaddusi nga tebannasimbula, beekubira enduulu nabo babawe omutendesi kyokka abakulira ekibiina ne beekwasa nga bwe batalina ssente.

Moses Asonya, nga mut Abaddusi nabo balaajana obutafiibwako mu kaseera k’okutendekebwa, bakama baabwe ne bavaayo nga wabula nnaku okugenda mu mpaka ez’enjawlo ekintu kye bagamba nti kikyamu kuba baba bagenda kukiiririra ggwanga era nga balina okulabirirwa okuva ku lunaku olusooka mu kwetegeka okutuusa ng’empaka ze baba bagendamu ziwedde.

By’atunuulidde mu kisa nja ekidda ko Otuchet yagambye nti; Nzikiriza tubadde n’okusoomoozebwa naddala mu byensimbi naye tuli mu kaweefube wa kulaba nga tufuna amakubo agenkalakkalirira agavaamu ssente okusinga okwesigama za Gavumenti zokka. Kino tukitadde ku mwanjo mu kisanja kino.

Eky’okutwala omutendesi omu mu misinde gya World Athletics Championships twakikola kuba twalina ssente ntono ddala nga twetaaga okukekkereza naye tugenda kulaba nti tekiddamu kubeerawo.

Ng’enda kulaba ng’omuwendo gw’abaddusi ogugenda mu misinde gy’ensi yonna gweyongera nga tulongoosa we tubadde tetukola bulungi naddala mu mbiro ennyimpi.

Tuli mu kaweefube waakulaba nga tuzimba enkambi ssatu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo awatendekerwa abaddusi.

Tuzimba mu Bukwo sso ng’era twagala okuzimba enkambi mu bitundu by’eggwanga byonna, nga mu bukiikakkono obuvanjuba wamu n’obugwanjuba.

Mu kisanja ekiddako, abatendesi baakubeera ku mwanjo kuba be bayimirizaawo omuzannyo era we batali abaddusi tebasobola kukola bulungi.

Ng’enda kufuba okulaba ng’emisinde gikwata kisooka mu mu ggwanga, ate ne Bannakampala nnyongere okugibaagazisa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kkooti1 220x290

Poliisi eremeddwa okutwala fayiro...

POLIISI eremeddwa okutwala fayiro eriko omusango gw’okutemula eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi mu...

Luwum 220x290

Abattakisi beegugunze olw’okuggala...

ABAGOBA ba takisi mu ppaaka enkadde abakozesa omulyango oguli ku Luwum Street bavudde mu mbeera ne bateeka akaziko...

Namanve 220x290

Ab’e Namanve balaajanidde ab’ekitongole...

ABATUUZE b’e Namanve (Kireku leerwe) abali ku ttaka ly’ekitebe ky’eggaali y’omukka, balaajana oluvannyuma lw’ekitongole...

Remassebunnya 220x290

Eyeekiika mu bba wa Rema aggyeeyo...

OMUSAJJA eyavaayo ne yeesimba mu bba wa Rema, abamu kye baataputa ng’ayagala okugootaanya emikolo gy’okwanjula,...

Brian 220x290

Mukula atutte Bryan White mu kkooti...

BRYAN White, ebibye bibi. Kkampuni ya Capt. Mike Mukula emututte mu kkooti lwa kumuguza mmotoka ku doola 120,000...