TOP

Bannayuganda beesunze kulaba ku kya World Cup

By Ismail Mulangwa

Added 31st January 2018

BANNAYUGANDA bagenda kufuna omukisa ogulaba ku kikopo kya World Cup. Ekikopo kigenda kussibwa ku kisaawe kya Cricket Oval e Lugogo nga March 6.

Coco 703x422

Kaheru (ku kkono), Limo ne Muramagi.

Guno gwakubiri nga kireetebwa mu Uganda ng'ogwasooka gwali mu 2009 nga beetegekera World Cup eyali egenda okubeera mu South Afrika mu 2010.

Ekikopo kino kyakutalaaga amawanga 50 mu nsi yonna, nga 10 ku gano ga mu Afrika.

Amalala kuliko; Ethiopia, Kenya, Mozambique, South Afrika, Sudan, Ivory Coast, Misiri, Nigeria ne Senegal. Uganda yafunye omukisa, oluvannyuma lwa kkampuni ya Coca Coca Uganda okutuukiriza ebisaanyizo ku ntambuza yaakyo.

Akulira bakitunzi mu Coca Cola Uganda, Maggie Kigozi, yagambye nti ekikopo kyakuyisibwa mu ngeri ya kikungu, nga kitambuzibwa mu nnyonyi yaakyo, era kituukira mu maka g'Obwapulezidenti, gye kijja okuggyibwa kitwalibwe e Lugogo.

“Teri akkirizibwa kukikwatako okuggyako okwekubisizaako ebifaananyi, ng’abakireese bwe banaategeka.

Ssaabawandiisi w'akakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga (NCS), Nicholas Muramagi, yasiimye Coca Cola olw’okutumbula omupiira mu Uganda n'agamba nti abasambi bangi abayise mu mpaka z'amasomero ze bazze bategeka kati emyaka 25.

“Abasambi abato ekikopo kibawa okwegomba ne bongera okutumbula ttalanta.

Kiyamba n'okutumbula ebyobulambuzi n’okuteeka Uganda ku mwanjo mu nsi yonna,” Muramagi bwe yategeezezza. Abalala abaabaddewo kuliko; Simon Kaheru, omwogezi wa Coca Cola ne Miriam Limo, kitunzi wa kkampuni eno.

Coca Cola era etaddewo akazannyo abantu 12 mwe banaafunira omukisa okugenda e South Afrika bajjire ku nnyonyi okunaabeera ekikopo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tap15 220x290

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi...

Engeri Corona gy’ayigirizza abakozi okuvuga eggaali

Det23 220x290

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus...

Ennyonja y’emmotoka etangira Coronavirus

Tap22 220x290

Abasomesa abatali ba Pulofeesa...

Abasomesa abatali ba Pulofeesa ku yunivasite bawadde obukwakkulizo

Lab15 220x290

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June...

Okukuza olunaku lw’abajulizi, June 3

Kit1 220x290

Batutte omulambo ku disitulikiti...

Batutte omulambo ku disitulikiti lwa kubamma bbaluwa