
Omuwandiisi wa UBF, Simon Barigo (ku ddyo) ng'annyonyola kukalenda esoose ey'ebikonde . Ku kkono ye Fred kavuma omumyuka wa Pulezidenti . (ekif:Silvano Kibuuka)
Omuwandiisi wa UBF, Simon Barigo afulumizza entegeka eno etandika n’ebikonde bya Intermediate (abazannyi abasuumuseemu) nga bitandika February 10 -18 e Lugogo.
Baakuzzaako ttabamiruka w’ekibiina nga February 25 era nga muno mwe bagenda okuyisiza amateeka amapya n’okuwa enkizo eteekawo obukiiko obutali bumu mu kibiina kya UBF.
Ebikonde bya National Open byakuzannyibwa nga March 3-10 nga muno mwe bagenda okulondera ttiimu y’eggwanga etandike okutendekebwa nga March 11 okwetegekera Commonwealth Games.
Bbo abatendesi b’ebikonde batudde enkya ya leero e Lugogo okwegeyaamu n’okutema empenda we bagenda okutandikira emirimu mu kisanja kya Moses Muhangi ekisoose.