TOP

Abeemisinde bagudde ne beekwasa omusana

By Musasi wa Bukedde

Added 5th February 2018

ABAWAGIZI b’emisinde mu ggwanga bennyamivu olw’omutindo gw’abaddusi oguddiridde ekireeseewo okutya nti Uganda yandiremwa okuwangula emidaali mu mizannyo gya Commonwealth egigenda okukwajja mu April.

Nkweta 703x422

Abaddusi mu gya mmita 5,000 gyabagoyezza bwenvu.

Ku baddusi abasukka mu 200 abeetabye mu misinde gy’e Namboole ku Lwomukaaga, okulondamu abaneetaba mu mizannyo gya Commonwealth mu kibuga Gold Coast eky’omu Australia, waabuliddwaawo omu atuusa obudde obutuufu.

Abasinga baabuzengako katono okutuukiriza obudde obutuufu ekyamazeemu abawagizi amaanyi.

Omu ku baddusi, Abu Mayanja yagambye nti omwezi baali baamanyiira kudduka mu March nti kyokka January ne February gya musana mungi ng’emibiri gyabwe bagikaka bukasi.

Ye akulira ekibiina ky’emisinde mu ggwanga (UAF), Domenic Otucet, yalaze okunyolwa olwa kiraabu eziri mu kitundu ky’e Sebei (Kapchorwa, Buukwo ne Kween) obutaleeta baddusi kwetaba mu misinde gino.

Yagambye nti kino kizza omuzannyo emabega era n’abasaba baleme kulinda UAF kubateekangamu ssente kuba kyo kirabirira bayiseemu bokka.

Emisinde gy’okwegezaamu egiddako gyakubeerayo nga February 20 e Namboole.

Abaddusi munaana be baakayitamu nga bano ye; Joshua Cheptegei, Mercyline Chelangat, Alfred Chemutai, Solomon Mutai, Alex Chesakit, Jackson Kiprop, Elzakel Kiprop ne Thomas Ayeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Maaso 220x290

Abadde yaakayimbulwa bamuttidde...

OMU ku bamenyi b’amateeka aboolulango mu Kawempe abadde yakaligibwa emyaka esatu mu kkomera e Luzira oluyimbuddwa...

Laha 220x290

Baze ambuzeeko kati wiiki bbiri...

OMWAMI wange yambulako kati wiiki bbiri nga simulabako kyokka yandekera omwana omuto nga ne ssente sirina.

Ssenga1 220x290

Omukazi alabika yandoga obusajja...

OMUKAZI bw’aba nga yanzita obusajja, nsobola okufuna eddagala? Sirina manyi ga kisajja bulungi ate nga gaali mangi...

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...

Dvq8ouzwkaakba8 220x290

Awagidde eky’okusimbawo Museveni...

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku...