TOP

Cheptegei alondeddwa ku ky'omuzannyi wa January

By Silvano Kibuuka

Added 12th February 2018

Bannamawulire abawandiika ag’emizannyo mu kibiina kya USPA balonze omuddusi Joshua Cheptegei ku buzannyi bwa January nga bamusiima okuwangula emisinde gye Italian Cross Country egya kiromita 11 gye yaddukidde eddakiika 30 ne sikonda 54.

Joshuacheptegei 703x422

Cheptegei

Mu lutuula lwa Nile Special – USPA Monthly Assembly ku Royal Imperial Royale Hotel enkya ya leero, bannamawulire bakubye akalulu nga Cheptegei awangudde okulonda kuno ku bubonero 360 n’addirirwa tiimu ya City Oilers eya Basketball ng’evuganyizza olw’okuwangula liigi y’eggwanga eya Basketball omulundi ogwokutaano.

Omuvuzi wa kkotoka z’empaka Jas Mangat / Joseph Kamya amaliddemu kyakusatu ku bunero 295 ng’ono yawangudde empaka za mmotoka ezisoose ku kkalenda ya Uganda Motor Club 2018 eza Mbarara Rally.

Cheptegei y’omu ku baddusi abagenda okukiikirira Uganda mu mizannyo gya Commonwealth Games mu Australia era nga waalukwasibwa ekirabo kye mu April omwaka guno.

Mu lutuula luno, Pulezidenti wa USPA Sabiiti Muwanga akuunze bannamawulire okwongera okufeffetta amawulire agaakuno nga tebasosola.

Akirambise nti ebibiina by’emizannyo ebyetemyemu nga bikaayanira obukulembeze nti abazannyi bebakozesa tebajja kufuna mukisa kuvuganya ku buzannyi bwa mwezi n’omwaka.

USPA era balangiridde abazannyi ba Woodball, Joyce Nalubega ne Brian Gwaka ku buzannyi bw’omwaka 2017.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Exp 220x290

Express efunye wiini esooka

Express, efunye obuwanguzi obusooka bw'ekubye Police FC ku ggoolo 3-2.

Kop1 220x290

Imam abasibiridde entanda

Imam abasibiridde entanda

Lip1 220x290

Abadde ayagala okuziika ssanduuku...

Abadde ayagala okuziika ssanduuku y'omufu enkalu asimattuse okugajambulwa abakungubazi

Kat3 220x290

Katikkiro Mayiga akunze abantu...

Katikkiro Mayiga akunze abantu okujjumbira omulimu gw'okuzimba eddwaliro ly'e Nkozi

Rep1 220x290

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo...

Ebya Federo ne regional tier bikomyewo mu palamenti