TOP

Omutendesi wa Express ento akukkulumidde abakungu

By Musasi wa Bukedde

Added 13th February 2018

OMUTENDESI wa Express ey’abato, Joseph Ssenyonga akukkulumidde abaddukanya ttiimu ya Express okusuulawo ttiimu y’abato amaanyi gonna ne bagamalira ku ttiimu enkulu ky'agambye nti kiyinza okutta ebitone by’abazannyi abato abaaliyambye ttiimu mu biseera by'omu maaso.

Ex4 703x422

Bya JOSEPH ZZIWA

Express FC 1:4 Vipers FC

Kino kyaddiridde Express okukubwa Vipers omwayo ku goolo 4-1 mu mupiira ogwazannyiddwa eggulo ku kisaawe kya Sendi e Nateete mu liigi y’abatasussa myaka 18 eya Fufa Juniors League.

Ssennyonga agamba nti ttiimu mirundi mingi ebaddenga eremererwa n’okutendeka olw’ensimbi obutabaawo kyokka nga nebweba ezannye abazannyi tebabeera mu mbeera nnungi nga n’olumu bazannya kulaba nti ttiimu enkulu tesalwako kabonera kuba Fufa yateekawo eteeka nti ssinga tiimu y’abato eremerwa okuzannya awatali nsonga etegeerekeka , ttiimu enkulu yakusalwako akabonero

Kino kikuumidde Express mu kifo ekisembawo n’obubonero 8 mu kibinja kya Hat-Trick ekikulembeddwa Vipers n’obunore 31 ate ekibinja kya Treble kikulembeddwa Onduparaka n’obubonero 33 nga Maroons y’esembye n’obubonero 7

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20180524at21944pm 220x290

Mbega wa ISO kata bimubugume ne...

MBEGA w’ekitongole kya ISO atwala disitulikiti okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma, Maj. Moses Ssegujja yasimattuse...

St1buk250518 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulimu ebipya ku batta abawala omuli obujulizi obubalumiriza kyokka nga butiisa.

Save 220x290

Museveni ayogedde ku bawamba abawala...

Pulezidenti agambye nti abatemu abawamba abawala ne babatta babafunzizza era gwe basembyeyo okukwata yabadde n’emirambo...

Whatsappimage20180524at20027pm 220x290

Abadde alimbalimba omuyizi wa S.4...

Emirimu gisannyaladde okumala akaseera mu ppaaka enkadde mu kibuga Kampala abagoba ba takisi abakolera ku siteegi...

Isabeti4 220x290

Yeemulugunyizza ku mutindo gwa...

OMUTEDENSI wa KIU Henry Kyobe akukkulumidde akakiiko akaddukanya omuzannyo gwa Beach Soccer olw’enzirukanya etamatiza...