TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Kampala Queens oluzannya olw'okubiri erutandise bulungi mu liigi y'abakazi

Kampala Queens oluzannya olw'okubiri erutandise bulungi mu liigi y'abakazi

By Stephen Mayamba

Added 13th February 2018

Kampala Queens etandise bulungi oluzannya olw’okubiri mu liigi y’omupiira gw’abakazi eya FUFA Women’s Elite League bw’ekkakkanye ku Isra Soccer Academy n’egikomerera ggoolo 3-1.

Queens1 703x422

Gladyc Nakitto omuzibizi wa Kampala Queens (wakati) ng'attunka n'abazannyi ba Isra Soccer Academy mu gwa liigi y'abakazi ku Villa Park ku Ssande nga February 11, 2018. Kampala Queens yawangudde 3-1. (STEPHEN MAYAMBA)

UCU Lady Cardinals 5-0 Wakiso Hills

Kampala Queens 3-1 Isra Soccer Academy

She Mak 0-3 Uganda Martyrs Lubaga

She Corporate 2-0 Western United

Kawempe Muslim 2-0 Muteesa I Royal University

Rines S.S 1-1 Ajax Queens

Omupiira guno gwazannyiddwa ku kisaawe kya Villa Park  e Nsambya akawungeezi ka Ssande.

Damalie Matama mu ddakiika 18’, Mable Kusaasira 49’ ne Rita Nakirijja 74’ be bateebye ggoolo ezaawadde bannyinimu obuwanguzi okwenywereza mu kifo eky’okusatu ne basigala mu lw’okaano lw’okulwanira ekimu ku bifo ebibiri mu kakung'unta ka ‘Semi fayinolo play offs’ okuva mu kibinja kya Elizabeth ekikulembeddwa Olila SS Women FC ne UCU Lady Cardinals eyawuttude Wakiso Hill ggoolo 5-0 e Mukono.

Mwajuma Nabukwasi ye yateebye ggoolo ya Isra Soccer Academy emu yokka gye baakomyeko.

Ogwa Eastern Heroes ne Olila Women tegwazannyiddwa oluvanyuma lwa bannyimu obutalabikako ku kisaawe kyabwe kyenyini ne baleka abagenyi ne bakonkomala newankubadde nga ttiimu zombi z’ e Soroti.

Mu mirala egyazannyiddwa bakyampiyoni aba Kawempe Muslim abakulembedde ekibinja kya Victoria oluzannya olw’okubiri balutandise na maanyi bwe bakubye Muteesa Royals 2-0 ate Uganda Martyrs nejjooga banyinnimu aba She Mak St (ttiimu ya yunivasite y’ e Makerere) negiwuttula ggoolo 2-0 omwabwe mwenyini.

She Corporates yakubye Western united 2-0 sso nga Rines SS WFC yalemaganye ne Ajax Queens ggoolo 1-1.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20180524at21944pm 220x290

Mbega wa ISO kata bimubugume ne...

MBEGA w’ekitongole kya ISO atwala disitulikiti okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma, Maj. Moses Ssegujja yasimattuse...

St1buk250518 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO YAFULUMYE...

Mulimu ebipya ku batta abawala omuli obujulizi obubalumiriza kyokka nga butiisa.

Save 220x290

Museveni ayogedde ku bawamba abawala...

Pulezidenti agambye nti abatemu abawamba abawala ne babatta babafunzizza era gwe basembyeyo okukwata yabadde n’emirambo...

Whatsappimage20180524at20027pm 220x290

Abadde alimbalimba omuyizi wa S.4...

Emirimu gisannyaladde okumala akaseera mu ppaaka enkadde mu kibuga Kampala abagoba ba takisi abakolera ku siteegi...

Isabeti4 220x290

Yeemulugunyizza ku mutindo gwa...

OMUTEDENSI wa KIU Henry Kyobe akukkulumidde akakiiko akaddukanya omuzannyo gwa Beach Soccer olw’enzirukanya etamatiza...