TOP

Marcos Asensio akyali ku foomu

By DAVID KIBANGA

Added 15th February 2018

Marcos Asensio, omuwuwtannyi wa Real Madrid, ng’ono asinga kuyita mu nnamba 11 yazzemu okukyamula abalabi bwe yayambye Real Madrid okuwangula PSG 3-1.

Asensio1 703x422

Asensio yateebedde Real Madrid ggoolo 2 nga bakuba PSG.

Bya David W. Kibanga

Marcos Asensio, omuwuwtannyi wa Real Madrid, ng’ono asinga kuyita mu nnamba 11 yazzemu okukyamula abalabi bwe yayambye Real Madrid okuwangula PSG 3-1.

 Asensio ye yakoze ggoolo ebbiri Real Madrid ze yateebye mu ddakiika ye 84 ne 87.

 Omupiira gwabadde gugaanye okutuusa Zidane bweyamuyingizamu olwo wiingi ya 11 eyabadde tekola n’etandika okubaamu obulamu.

Okuva sizoni bweyatandika, Asensio abadde azannya bubi era bangi babadde batandise okulowooza nti alabika yaggwamu ku myaka emito gy’alina kyokka okusinziira ku mutindo gweyataddewo eggulo, teri akyasobola kuddamu kubusabuusa mutindo gwe.

 Yavudde ku katebe oluvannyuma lwa Zinedine Zidane okuggyamu Isco mu ye 79.

 Cristiano Ronaldo yakubye ggoolo bbiri okwabadde n’eya peneti nalyoka afuuka omuzannyi asoose okuteeba ggoolo za Champions league 100 mu kiraabu emu.

Ronaldo era yafuuse omuteebi asoose okuteeba mu mipiira gya Champions league 7 egisooka. Marcelo ye yateebye endala.

Real Madrid eyagala maliri bw’eba yakuyitawo okudda ku quarter.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...