TOP

Musagala anattunka ne Cheptegei

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd February 2018

RONALD Musagala 25, oluvannyuma lw’okwolesa ffoomu mu mpaka z’eggwanga eza Cross Country ezaabadde e Jinja, agattiddwa ku lukalala lw’abaddusi ab'amannya abanadduka eza 'The 2018 Athletix Grand Prix Series'.

Aaaaaaabig703422 703x422

Empaka zaakuyindira mu South Afrika wiiki ejja. Musagala waakuttunka ne Joshua Cheptegei eyasooka okulondebwa.

Basookera mu gya 1500 nga March 1, mu kisaawe kya Ruimsing e Johannesburg, n'oluvannyuma battunke mu mmita 3000 nga March 08, mu kisaawe kya Tuks.

Musagala y’alina likodi y’eggwanga mu misinde gino eya 3:33.65 ate mu mmita 800 alina 1:45.87.

Abaddusi abalala abasuubirwa e South Afrika kuliko Omumerika Justin Gatlin, Anaso Jobodwana, Retshidisitswe Mlenga, Caster Semenya, Clarence Munyai, Trentavis Friday, Justin Walker ne Munnakenya Julius Yego.

Mu kiseera kye kimu, abaddusi 10 be baakatuusa obudde obunaabasobozesa okwetaba mu mizannyo gya Commonwealth mu April.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta