TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Musagala alwana kutuusa budde obumutwala mu Commonwealth

Musagala alwana kutuusa budde obumutwala mu Commonwealth

By Scovia Babirye

Added 26th February 2018

ABAKULIRA emisinde mu ggwanga beeraaliikirivu olw’okubulwa abaddusi ba mmita 800, 1500 (abasajja), 100 ne 200, abanaakiikirira eggwanga mu mizannyo gya Commonwealth.

Duka 703x422

Musagala (mu maaso) ng’adduka ku Lwomukaaga

Abaddusi bonna abeetabye mu misinde gy’oku Lwomukaaga, baalemeddwa okutuusa obudde obwetaagisa okwetaba mu mizannyo gino egy’okubeerawo mu April, mu kibuga Gold Goast mu Australia.

Omutendesi Nalis Bugingo, yagambye nti guno gwe mulundi oguddirira ogusembayo okwegezaamu, ng’ogusembayo gwakubeerawo ku Lwamukaaga (March 3), sso nga nsalessale w’okuwaayo amannya ga ttiimu yonna wa lunaku lwe lumu obutasukka ssaawa 6:00 ez’ekiro.

Abaddusi 10 bokka be baakayitamu. Ku Lwomukaaga, omuddusi omu yekka, Shida Leni eyayitamu edda, yayongedde okukakasa nti teyali nsobi, bwe yamenye likodi y’emisinde 400 gye yaddukidde mu sikonda 52:47.

Justine Bayiga y’abadde ne likodi mu misinde gino gye yateekawo mu 2008 nga yagiddukira mu sikonda 52:48, mu kibuga Khartoum ekya Sudan.

“Leni ayongedde okutulaga nti tulinayo emidaali gya zaabu, era kati tumulinzeemu likodi ya nsi yonna.” “Kinnyongedde amaanyi nti likodi ngimenyedde ku butaka, era kye mmanyi nti n’emidaali hhenda kugireeta,’’ Leni bwe yategeezezza.

MUSAGALA AKYALINA ESSUUBI

Ronald Musagala, ye muddusi omusajja eggwanga gwe litunuulidde okulikiikirira mu mmita 1500, kyokka naye obudde bukyamulemye okutuusa.

Musagala y’alina likodi y’eggwanga (3:33.65) mu misinde gino. “ Sizoni eno tebadde nnyangu kuba tetufunye kuwummula kumala ate ng’emisinde gya Commonwealth baagiteeka kumpi nnyo.

Ekikyatulemesezza okuyitamu gy’emibiri gyaffe okuba nga teginnatereera bulungi,” Musagala bwe yategeezezza, wabula n’akakasa abawagizi be nti omulundi oguddako ajja kutuukiriza obudde.

Ku Lwokuna (March 1), Musagala y’omu ku bagenda okwetaba mu mpaka z’abaddusi ab’amannya eza ‘The 2018 Athletix Grand Prix Series’ ezinaayindira mu South Afrika, era eno gy’asuubira okutuukiriza obudde mu mmita 1500.

Abaayiseemu:

1.Shida Leni (mmita 400)
2. Winnie Nanyondo (1500)
3. Albert Chemutai (3000 SC)
4. Joshua Cheptegei (5000/10,000)
5. Jacob Kiplimo (5000 /10,000)
6 .Timothy Toroitich (10,000)
7. Mercyline Chelangat (10,000)
8. Robert Chemonges (Marathon)
9. Alex Chesakit (Marathon)
10. Jackson Kiprop (Marathon)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kept 220x290

Looya wa Kiwanuka ayanukudde mukyala...

EMIVUYO gyeyongedde mu ffamire y’omugagga Mohan Kiwanuka akulira balooya be bw’ategeezezza nti, mukama waabwe tabawanga...

Temu 220x290

Taata asse omwana n’amusuula mu...

ABAAGALANA bakwatiddwa nga bateeberezebwa okwekobaana ne batta omwana ow’emyaka ebiri, omulambo ne bagusuula mu...

Kat1 220x290

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka...

Amaanyi ga Buganda gali mu bavubuka abakuziddwa mu mpisa

Pp 220x290

Sabiiti amalirizza lipooti Pulezidenti...

MAJ. Gen. Sabiiti Muzeyi akulembedde badayirekita ba poliisi ne basisinkana Pulezidenti okumwanjulira pulaani yaabwe...

Tek1 220x290

Akulira ebibiina by'obwegassi e...

Akulira ebibiina by'obwegassi e Kawempe avumiridde eky'okuggulawo ebibiina nga tebimaze kunoonyerezebwako