TOP

Muhangi ye pulezidenti w'ebikonde - Kkooti

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd March 2018

KKOOTI Enkulu erangiridde Moses Muhangi ku bwapulezidenti bw'ekibiina ekiddukanya ebikonde mu ggwanga (UBF), era nti yalondebwa mu mateeka.

Muhangi 703x422

Muhangi (owookubiri ku ku ddyo) ng'ayogera wabweru wa kkooti. Addiriddwa Godfrey Nyakana, Kyakuwa owa Kalinabiri Boxing Club ne Phillip Munaabi munnamateeka wa Muhangi. Ku ddyo ye Zebra Senyange.

Eyaliko omutendesi wa The Bombers, Sam Rukundo, Moses Kintu ddiifiri, Hajji Juma Nsubuga owa Kyengera Boxing Club ne Charles Ssemakalu atendeka Namungoona Boxing Club, baagenda mu kkooti eno nga basaba okulondebwa kwa Muhangi kusazibwemu kubanga yaziimuula ekiragiro kyayo ekya nga January 19.

Bano baasooka kusaba kkooti eno eyimirize okulonda okwalina okubaawo nga January 20, kyokka omulamuzi Lydia Mugambe n'alagira kugende mu maaso kubaga tewaali nsonga ya muzinzi yali ekukugira.

Okulonda kwali kwa mirundi ebiri; aba Muhangi baalondera ku Kati Kati, ate aba Rukundo ne balonda Kenneth Gimugu nga basinziira ku Lugogo Tennis Club.

Oluvannyuma, ekiwayi kya Rukundo kyaddayo mu kkooti ne kisaba omulamuzi asazeemu okulondebwa kwa Muhangi nga bagamba nti okwabwe kwe kwali okutuufu.

Mu nsala ye, omulamuzi Mugambe yagambye nti; " Okusalawo kwange kwali kulambulukufu. Mwajja wano nga mwagala okulonda kuyimirizibwe, naye nga mmwe temulina kwe mutegese, ne nsalawo kugende mu maaso.

Olwo ate nandiragidde ntya okwammwe, abaali tebategese, okugenda mu maaso?" Omulamuzi yawunzise, ng'alangirira nti Muhangi yalondebwa mu mateeka, era nti ye pulezidenti wa UBF omutuufu, n'alagira Rukundo ne banne okumusasula (Muhangi), ssente zonna z'asaasaanyizza mu musango guno.

“Ensalawo y’omulamuzi ebadde ya bwenkanya. Bannaffe tuzze tubalabula obutamala biseera mu kkooti kuba ekituufu bakimanyi, naye nga tebawulira, ” Muhangi bwe yategeezezza oluvannyuma.

Gye buvuddeko, n'akakiiko akavunaanyizibwa ku mizannyo mu ggwanga (NCS) kaategeezezza nga Muhangi bwali pulezidenti wa UBF omutuufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bre 220x290

Aba Miss Uganda batongozza okugaba...

Aba Miss Uganda batongozza okugaba paadi mu masomero ng'erimu ku makubo okumalawo ekizibu ky'abayizi abawala abayosa...

Lukyamuziwebuse 220x290

Mukozese ekisiibo okwezza obuggya...

Abayizi bakubiriziddwa okukozesa ekisiibo kino okwenenya olwo bafune obulamu obulungi.

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja