TOP

Abazannyi ba ttiimu y'eggwanga bakkiriziddwa mu gy'Amasaza

By Musasi wa Bukedde

Added 2nd March 2018

EMYAKA10 egiyise, ttiimu z'Amasaza ezeeriraanye zibadde zibeera mu kibinja kye kimu. Kino kibadde kikolebwa okwewala ttiimu okusaasaanya ssente ennyingi mu by'entambula. Mu mpaka z'omwaka guno, ebintu byakyusiddwa.

Cranes12703422 703x422

Minisita w’Emizannyo e Mmengo, Henry Ssekabembe yagambye nti kino kikoleddwa okwongera okusitula omutindo gw'emipiira gy'Amasaza n'okwongera okussaawo enkolagana wakati w'Amasaza ag'enjawulo.

"Ng'oggyeeko okubawa omutemwa gwa ssente z'abavujjirizi, tugenda kuyamba ttiimu zonna mu byentambula," Ssekabembe bwe yannyonnyodde, n'asaba abakungu ba ttiimu zino n'Abaami ba Kabaka abatwala amasaza okukolagana obulungi.

Ssentebe w’akakiiko akaddukanya empaka zino, Sulaiman Sejjengo yagambye nti n'amateeka agamu gaakyusiddwa.

Mu gano mulimu okukkirizza abazannyi ba ttiimu y’eggwanga ey’abali wansi w’emyaka 17 okwetaba mu mpaka zino, era baatandise okwewandiisa eggulo ku Lwokuna.

Mu mpaka eziyise mubadde temukkirizibwamu muzannyi yenna eyali azannyidde ku ttiimu z'eggwanga ez'enjawulo.

"Kino tukikoze okwongera omuzinzi mu mpaka, n'okuyamba abaana bano ababeera tebasobodde kweyongerayo ku ttiimu enkulu oba mu kiraabu za babinywera," Sejjengo bwe yagambye.

Ensengeka y'ebibinja;

Ekibinja A: Gomba, Kabula, Buweekula ne Kyaddondo.

Ekibinja B: Ssingo, Kyaggwe, Butambala, Mawongola ne Bugerere.

Ekibinja C: Buddu, Ssese, Kooki ne Bulemeezi

Ekibinja D: Busiro, Mawokota, Busujju, Buvuma ne Buluuli. Gomba be bakyampiyoni b’omwaka oguwedde, nga baakuba Ssingo (1-0) ku fayinolo eyali e Namboole.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pass 220x290

EBIKULU MU BUKEDDE W'OLWOKUBIRI...

Bawambye omwana omulala ne basaba obukadde mukaaga; bamusse omulambo ne bagusiba mu kadeeya.

Owakccangayogeramulukiiko 220x290

Ab'e Bwaise batabukidde aba KCCA...

“Twagala Pulezidenti Museveni y’aba atulagira okusasula kuba n’amazzi gakyatuyingirira mwe mulabika temuvudde na...

Kizito 220x290

Basajjabalaba alaalise okulwanyisa...

NNAGGAGGA Hassan Basajjabalaba asinzidde mu kuziika Charles Muhangi n’alabula abaggagga abaagala okutwala ebintu...

Rite6 220x290

Poliisi ekubaganye n'aba takisi...

Mu kanyoolagana akaabaddewo omuserikale eyategeerekeseeko erya Kasirye yakubiddwa ejjinja era ono yatwaliddwa...

Lekwa 220x290

Muhangi afudde akkirizza okuliyirira...

Ssentebe w’e Nsangi, Abdul Kiyimba yasabye Ruhakana Rugunda okugonjoola eby’ebizimbe ebikaayanirwa kubanga bwe...