Bya TEDDY NAKANJAKO
BASAJJA 1500
EKIROOTO kya Ronald Musagala okukiikirira eggwanga mu mizannyo gya Commonwealth eginaayindira mu kibuga Gold Coast ekya Australia omwezi ogujja kyafuumuse bwe yalemereddwa okutuusa obudde obwetaagisa.
Musagala ne banne bwe bava mu kiraabu ya UWA Halimah Nakaayi ne Winnie Nannyondo ku Lwokutaano ekiro baabadde mu nsiike wamu ne Joshua Cheptegei ne Abel Siwokwo baabadde mu mpaka za Athletix Grand Prix Series mu kibuga Johannesburg ekya South Afrika nga basatu ku bbo baagala okutuusa obudde obwetaagisa mu Commonwealth.

Wadde teyasobodde kutuusa budde oluvannyuma lw’okumalira mu kyokuna ng’aziddukidde 3:41.69 (baagala 3:37.00) yavuddeyo n’ensimbi z’e South Afrika rand 4000 eza Uganda 1,220,000 ate Cheptegei eyakutte eky’okubiri n’afuna rand 10,000 eza Uganda 3obukadde busatu.
Mu kisera ky’ekimu Halimah Nakaayi yabadde mu bire oluvannyuma lw’okutegeezebwa nti atuusizza obudde obumwetaagisa okuteekebwa ku ttiimu egenda mu Australia mu mizannyo gya Common wealth.
Nakaayi abaabadde basindana ne munne Winni Nannyondo eyatuusa edda obudde mu misinde gya 800, yaziwangulidde mu ddakiika 1:01.44 ne kavvu wa rand 20,000 eza Uganda obukadde mukaaga ate Nannyondo n’akwata ekyokubiri ne kavvu wa rand 10,000. Kati abaddusi 11 be batuusizza obudde obwetaagisa mu Commonwealth.