TOP

Nnantameggwa wa Chess agenda Italy

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2018

NANTAMEGGWA w’omuzannyo gwa Chess omukazi mu Uganda ne Africa Peninnah Nakabbo yeebugira mpaka za World Amatuer Individual Chess Championship mu kibuga Kagriary ekya Itary.

Peninnahnakabbochess1 703x422

BYA GERALD KIKULWE

Nakabbo 24, azannyira mu Kireka Chess Club yatuuka mu kkula lino oluvannyuma lw’okuleebya banne bonna bwe baali mu mpaka z’African Chess Championship 2018 e Zambia n’awangula omuddaali gwa Zzaabu n’ekikopo nga kati waakukiikirira East Africa ne Africa yonna mu z’ensi yonna ezitandika nga April 21 – 30,2018.

“ Essanyu lye nina lya mwoki wa ggonja kuba nange nali sisuubira nti olunaku lumu e Bulaaya olw’ekitone kyange naye Mukama akikoze era ngenda kulaga abazungu nti ne mu Africa eriyo ebitone mu mizannyo emirala ogutali mupiira gwokka, era nsuubiza okukikola nga bwe nakikola mu z’Africa okuwanika bbendera ya Africa,” bwe yaweze Nakabbo.

Ono ye munnayuganda omukyala asoose mu by’afaayo bya Uganda okukiikirira Africa mu mpaka z’ensi yonna mu muzannyo gwa Chess.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Deb2 220x290

Enkambi ya Goodlyfe ezzeemu nnabe!...

Enkambi ya Goodlyfe ezzeemu nnabe!

Hub1 220x290

Mukama wange tereeramu katono nze...

Mukama wange tereeramu katono nze nkole ogwange

Biz1 220x290

Ow’ebizigo agoba ddiiru ki ewa...

Ow’ebizigo agoba ddiiru ki ewa Pulezidenti?

Aaronramsey 220x290

Mourinho azzeeyo kusokoola Arsenal...

ManU yasokoola dda Arsenal, bwe yagigulaako Alexis Sanchez mu katale k’abazannyi akawedde. Ku luno, Mourinho agamba...

Mosalah 220x290

Ttiimu zibbingwa z'e Bulaaya ziswamye...

Barcelona yeewera nti Salah k'anaabeegattako, waakumuzannyisa ne Lionel Messi ku kyoto ate Real Madrid egamba nti...