TOP

Barcelona erinze Chelsea mu Champions League

By Musasi wa Bukedde

Added 14th March 2018

Mu nsisinkano zaabwe 16 ezisembyeyo, Barcelona ewanguddeko 5, Chelsea 5 ate 6 bagudde maliri

Barcelonaandchelsea 703x422

Hazard owa Chelsea ne Messi owa Barcelona

Leero ku Lwokusatu mu Champions League:

Barcelona - Chelsea

Ku Ssaawa 4: 45 ez'ekiro kya leero ku Lwokusatu, abasajja baakweyawula ku balenzi mu mupiira, Barcelona bw'aneeba esisinkanye Chelsea mu Champions League. Bali ku Nou Camp, nga kye kisaawe kya  Barcelona mu lutalo lw'okulwana okwesogga 'quarter'.  Mu luzannya olwasooka, ttiimu zino zaagwa maliri (1-1) era awangula mu gwa leero, teri kubuusabuusa yeesogga 'quarter'. Barcelona yeesize Lionel Messi okugiteebera ggoolo ez'obuwanguzi ate nga Chelsea, Eden Hazard y'alina okugisala ku kaguwa. Mu 2012, Chelsea yaggyako Barcelona mu mpaka ze zimu era beesomye okukiddamu leero. Mu nsisinkano zaabwe 16 ezisembyeyo, Barcelona ewanguddeko 5, Chelsea 5 ate 6 bagudde maliri. Biggweera, mupiira gwa ssaawa 4:45 ez'ekiro.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe