TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Golola ayogedde ky'azzaako ng'amaze okulwana ne Kikenwa

Golola ayogedde ky'azzaako ng'amaze okulwana ne Kikenwa

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2018

"Bwe mmala okulaga Kikenwa essomo, amangu ddala njagala bantegekere Semata kuba y'anaaba asigadde ku lukalala lw'abo be nnina okugolola ettumba nga sinnannyuka nsambaggere"

Mosesgolola 703x422

Moses Golola

MOSES Golola agambye nti bw'amala okukuba Abu Kikenwa, agenda kuzzaako Umar Semata, olwo annyuke okuzannya abazannyi ba wano mu nsambaggere.

Golola yasangiddwa mu ggiimu ye, mu kutendekebwa okwa kaasammeeme, nga yeetegekera okuttunka 17) ku Freedom City.


" Bwe mmala okulaga Kikenwa essomo, amangu ddala njagala bantegekere Semata kuba y'anaaba asigadde ku lukalala lw’abo be nnina okugolola ettumba nga sinnannyuka gwa wano," Golola bwe yategeezezza.


 Yagasseeko:" Semata mmuwulira nga yeesoma nga bw'ansobola naye mumugambe nti ensambaggere si ya mumwa, wabula ya mu miguwa. Njagala hhende okuwummula nga tewakyali mutooto yenna aneepimamu."


Golola tannakubwamu lulwana lwonna ng’attunka ne bannansi banne era abazannyi okuli; Malik Kaliisa, kati eyafuuka omutegesi w’ensambaggere,Titus Tugume, Ronald Mugula n’abalala, abalese bamwasimula nga bugolo.

BADDIIFIRI BABANGUDDWA
Mu kiseera kye kimu, baddiifiri 11 abalamula ensambaggere babanguddwa ku ngeri y’okulamula omuzannyo guno, basobole okutuuka ku mutindo gw’ensi yonna.  Ssaabawandiisi w’ekibiina ekitwala omuzannyo guno, Patrick Liyoza, yagambye nti kino bakikoze kubanga baddiifiri bangi babadde tebamanyi mateeka mwe balina kusalira mpaka za njawulo.


“Mu Uganda abasinga bamanyi ddiifiri w'ensambaggere omu yekka, Paddy Mugonya (atera okulamula empaka eziri ku mutindo gw’ensi yonna, wabula tulinayo n'abalala era twasazeewo twongere okubabangula omutindo gwabwe gulinnye," Liyoza bwe yagambye.


Omusomo gwamaze ennaku bbiri  ku ggiimu ya Powerflex e Mengo. Charles Wandera, omu ku baagwetabyemu, yasiimye abategesi olw’okubalowoozaako ne bakendeeza ku mugugu gw'okulamula okuva ku ddiifiri omu yekka.    

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...

Ganja2 220x290

Ebintu 15 by’okola n’oganja ewa...

Edith Mukisa omukugu mu kubudaabuda abaagalana n’abafumbo akuwa ebintu 15 byoyinza okukola okusobola okuganja n'okunyweza...

Condoms 220x290

Kkondomu ezirimu ebituli zisattizza...

Bannayuganda abettanira kkondomu za Life Guard baweereddwa amagezi okwekenneenya kkondomu ze bagula nga tebannazikozesa....