AGAVA mu nkuubo z’omu maka ga Man United aga Old Trafford galaga nti Jose Mourinho asabye abatwala kiraabu eno okutandika okuperereza Arsenal ebaguze Aaron Ramsey.
ManU yasokoola dda Arsenal, bwe yagigulaako Alexis Sanchez mu katale k’abazannyi akawedde. Ku luno, Mourinho agamba nti ayagala Ramsey wadde nga ne Chelsea, yayagala dda okumugula mu Arsenal.
Endagaano ya Ramsey ne Arsenal eggwaako sizoni ejja era abakungu ba Arsenal batiddemu nti yandigaana okussa omukono ku ndagaano empya olwa kiraabu, ez’amaanyi ezimwesimbyemu okumugula.