TOP
  • Home
  • Mupiira
  • KCCA erumbye Soana FC mu ‘Uganda Cup’

KCCA erumbye Soana FC mu ‘Uganda Cup’

By Musasi wa Bukedde

Added 21st March 2018

Soana eyagala kwesasuza KCCA eyagikubye ggoolo 1-0 mu nsiike ya liigi e Lugogo gye buvuddeko.

Abazannyibakcca 703x422

Muhamad Shaban eytaeebye ggoolo eyayisizamu KCCA FC okwesogga oluzannya lw'ebibinja bya CAF Champions League (ku kkono) nga bane bamuyozayoza oluvanyuma lw'omupiira

Leero mu Stanbic Uganda Cup
(ssaawa 10:00)
Soana - KCCA e Kavumba
UPDF - Proline e Bombo
Busula - Synergy e Busula
KJT - BIDCO ku Villa Park

ESSANYU ly’okuwangula St George ne beesogga ebibinja bya ‘CAF Champion League’, KCCA FC yaakuliyimirizaako olwaleero ng'erumbye Soana FC e Kavumba mu Wakiso mu mpaka za ‘Stanbic Uganda Cup’.

Ng’oggyeeko ttiimu zombi okulwanira ekifo ku luzannya lwa ‘quarter’, Soana eyagala kwesasuza KCCA eyagikubye ggoolo 1-0 mu nsiike ya liigi e Lugogo gye buvuddeko. Ku ludda lwa KCCA, ekolerera kuwangula bikopo bibiri omwaka ogwokubiri oguddiring'ana.

Wabula esubiddwa  Mohammad Shaban, eyagiteebedde ku St. George ku Lwomukaaga. Ono yalwadde ng’azannyira West Nile, bwe yabadde ewangula Ankole (2-0) mu mpaka za The Drum ku Ssande.

Omutendesi wa KCCA, Mike Mutebi nga yenna tasalikako musale eggulo, yagambye nti Shaban ajja kubonerezebwa kubanga yeewaggudde bwewagguzi okuzannyira West Nile. “Shaban teyansaba lukusa era ajja kukisasulira,” bwe yaweze.

Ku Shaban kwegasseeko, Denis Okot naye eyazannyidde Acholi ng’eremagana 0-0 ne Buganda e Gulu ku Ssande. Mu kiseera kye kimu, KCCA emanya leero ttiimu endala essatu z’egenda okuttunka nazo mu kibinja kya CAF Champions League. Obululu bukwatibwa leero e Cairo ekya Misiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda...

Bannamateeka ba Bannansi ba Rwanda abaakwatibwa balaajanye

Lab2 220x290

Erias Lukwago alabudde abavubuka...

Erias Lukwago alabudde abavubuka abatava ku WhatsAapp ne Facebook

Hop2 220x290

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa...

Eby'okwerinda byongedde okunywezebwa

Jip1 220x290

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde...

Bakukkulumye olwa munnaabwe eyafudde obutwa

Kop2 220x290

Awonye okwokebwa abayizi be

Awonye okwokebwa abayizi be