TOP

Ttiimu ezaagala okugula Harry Kane ziweze

By Musasi wa Bukedde

Added 24th March 2018

Abakungu ba Bayern bagamba nti singa anaaba agenze, bajja kwetaaga omuzannyi omulala ateeba ggoolo nga ye era basonze ku Kane.

Harrykane 703x422

Harry Kane


BAYERN eya Girimaani, yeegasse ku ttiimu endala ezikanudde amaaso okuggya omuteebi Harry Kane mu Spurs.


Bayern okwesowolayo okuzeegattako, kivudde ku muteebi waayo Robert Lewandowski ayinza okubagendako mu katale k’abazannyi mu August.


Abakungu ba Bayern bagamba nti singa anaaba agenze, bajja kwetaaga omuzannyi omulala ateeba ggoolo nga ye. Basonze ku Kane gwe bagamba nti y’asobola okuziba eddibu lye. Sizoni eno, Kane yaakateeba ggoolo za Premier 24 era y’omu ku bazannyi abali ku ntikko y’okuteeba.


Bayern egenze okwakagala okujja okumulamuza mu Spurs, nga ManU ne Chelsea, z’ayagala dda okugula Omungereza ono wadde ng’abakungu ba ttiimu bagamba nti tebamutunda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi