TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Tukuleetedde eby'afaayo bya kiraabu ya Express eri mu kattu k'okusalwako nga Hajji Hassan Bulwadda ye ssente waayo owe 13

Tukuleetedde eby'afaayo bya kiraabu ya Express eri mu kattu k'okusalwako nga Hajji Hassan Bulwadda ye ssente waayo owe 13

By Musasi wa Bukedde

Added 26th March 2018

Tukuleetedde eby'afaayo bya kiraabu ya Express eri mu kattu k'okusalwako nga Hajji Hassan Bulwadda ye ssente waayo owe 13

Haj1 703x422

Hajji Hassan Bulwadda ssentebe w'Express aliko kati ng'abuuza ku bawagizi b'express

EXPRESS  FC eyali ey'amaanyi, mu kiseera kino eyolekedde okusalibwako edde mu bibinja ebyawansi. Eno ye Club esinga obukadde mu Uganda kw’ezo ezizannyira mu kibinja kya babinywera.
 
Yatandikibwawo maneja w’Olupapula lw’amawulire olwa Uganda Express mu 1957.
Ekirowoozo ky’okugitandikawo kyaleetebwa munnabyabufuzi owamaanyi era omututumufu mu kiseera ekyo Joseph William Kiwanuka bangi gwe baali bamanyi nga ”Jolly Joe” Kiwanuka eyasalawo okugaziya obuweerezabwe okuva mu by’obufuzi okusensera bizinensi n’ebyemizannyo.
 sentebe wxpress nga bamulambuza ennyiriri zabawagizi ba kiraabu Ssentebe w'Express nga bamulambuza ennyiriri z'abawagizi ba kiraabu

 

 
Olupapula lwa Uganda Express ofiisi zalwo zaali ku White Nile e Katwe.
July 7, 1959, Kiwanuka yatuuza olukiiko ku ofiisi ze ku poloti 89, Jinja road. Lw’etabibwamu mikwanogye egy’okulusegere nga Dr Paul Senyendo, Dr Barnabas Kunuka, John Senseko Kulubya ne Gaster Nsubuga.  Baateesa ku nsonga nnyingi nga tannaba kubanjulira kirowoozo kya kutandikawo Club eno.
 
Ekiseera ekyo kiraabu z’Omupiira zaali ntono mu Uganda ate ng’ezisinga za bitongole. Zino kwaliko: Bitumastic, Prisons, Police, Nsambya, Mutungo, Young Salumbay, Kayunga, Namulonge ne Wampewo.
 
Olukiiko lwasalawo Dr Kiwanuka okubeera sentebe wa Express ate Kulubya yaweebwa kya muwanika. Nsubuga baamukwasa gwa kunoonya bazannyi wabula olw’okubeera nti Kiwanuka musajja eyeenyigiramu obutereevu yalondebwa okubeera omutendesi.
 
Yalonda Omulangira Badru Kakungulu okubeera Omuyima era wano webaalondera erinnya Express FC erikwatagana obutereevu n’Olupapula lw’amawulire.

 

 
Abazannyi bebasooka okuwandiika kuliko omukwasi wa ggoolo Bablo Ali, Henry Balamaze Lwanga, Dr James Makumbi n’oluvannyuma ne baleeta Noah Mbowa.  Abalala kuliko; Robert Kiberu (kaputeeni), Abdul Karim Kiggundu, Ali Kitonsa, Charles Jaggwe, Jimmy Sewava, ne John Dibya. Abaagyegattako oluvannyuma kuliko; Jimmy Bakyayita Semugabi, Naftali Ekesa, R Bugoba, Majid Fauza, Ibrahim Dafala, John Kitanda, ne John Ssimbwa.
 
Kiwanuka yalina sente era yasalawo okusasulira emisososo gyonna era n’afuba okumanyisa abantu bonna nti eno yali ttiimu ya muntu w'abulijjo era wano webaava okufuna erinnya erya Mukwanogwabangi.
 
Kino kyali kituufu kubanga kiseera kitono nnyo Express yali emaze okuwangula emitima gy’abantu. Bangi baagijjumbira nga beesigama ku maanyi ga Kiwanuka n’enkolagana ennungi gye yalina n’Obwakabaka bwa Buganda.
 
Wabula olwakakwate Kiwanuka keyalina n’ekibiina kya UPC, kyakosa enkolagana ye n’abakungu ba kiraabu abalala abaali bava mu bibiina by’obufuzi ebiralala era bangi baayabulira Express olw’okutya okutulugunyizibwa.
 
Olw'okubeera nti ettutumu lya Kiwanuka teyaaliko kkomo nga n’ekigambo kye ku nsonga yonna kibeera kya nkomeredde, Express yabuutikira Kampala ne Liigi ya disitulikiti (District League) eyali eya babinywera mu kiseera ekyo nga tebannaba kutandikawo liigi ya ggwanga (national league) mu1968.

Ebimu ku bikopo bye baawangula kuliko; Wardle Cup ne Luwangula Cup. Kiwanuka yali omu ku bannamukisa abaali bafunye omukisa okulaba ku liigi za Bappulo ebweru wa Uganda ekyamuyamba okufuna obukodyo bw’okutendeka omupiira.

Yabukozesa okusomooza abatendesi bangi mu ngeri ey’ekikugu naddala mu kiseera ng’abazannyi be tebayitiddwa kuzannya ku ttiimu y’eggwanga. 

 
Eky'okulabirako ekirungi ky’oyinza okujjukira ky'ekikopo kya Challenge Cup ekyatandikibwawo mu 1961 nga Express ettunka ne ttiimu y’eggwanga.
 
Kino ky'akolebwa okusobola okukkakkanya olutalo lw’ebigambo wakati wa Kiwanuka ne koochi wa Cranes Clive Bond. Kiwanuka yali aludde ng’asojja Omungereza ono olw’okulemwa okulonda ttiimu kabiriiti okuzannyira eggwanga ng’asinziira ku bbaluwa eyasuula abazannyi ba Express okubagaana okuzannya mu Gossage Cup.
 
Omupiira gw'agenda okuggwa nga Express ekubye Cranes ggoolo 2-1, era Kiwanuka yasigala asekera mu ttabi lya ngalo. Kino kiringa ekyayongera okusikuula akakuku, omulundi ogwaddako Bond teyayita wadde omuzannyo omu mu ka bazannyi ba Express  nga Cranes egenda okuzannya ogw’omukwano ne Green Eagles eya Nigeria.
 
Gw'agenda okuggwa nga Uganda ekubiddwa 0-2, kino kyayongera kusiikuula mmeeme ya Kiwanuka. 
 
Okukakasa Bannabyamizannyo nti Bondo yali tamanyi kutendeka mupiira, Kiwanuka yasaba Nigeria bazannyemu ogw’omukwano. Yakakasa bye yali ayogera, eddenge evvannyuma ly'agenda okuvuga nga Express ebala 3-0, olwawangula omupiira guno Kiwanuka n’alangirira nti Express erinnye eddaala n’agibatiza erya Red Eagles. 
 
‘National football league’ bwe yatandikibwawo mu 1968, Express yali emu ku kkiraabu ezasooka okusitukira mu kikopo. Kiwanuka yateekamu amaanyi bangi nnyo mu kugitandika wabula ekyokusaalirwa n’atemulwa mu 1973 nga Express tennaba kuwanika ku kikopo kya liigi.

Eyamuddira mu bigere Tucker Lwanga Mubiru n’akulembera era mu kiseera kye beetikka liigi emirundi ebiri mu 1974 ne 1976 nga tebannaba kuwerebwa Nasur mu 1977. 

Gavumenti ya Idi Amin ng’egudde mu 1979, Express yaggyibwako envumbo n’ekomawo mu liigi y’eggwanga mu sizoni ya 1980.
 
EXPRESS TESALIBWANGAKO KUDDA MU KIBINJA KYAKUBIRI
 
 Kiraabu erina ebikopo mukaaga okuli; (1974, 1975, 1993, 1995, 1996 ne 2012
Red Eagles ezze ewanika ekikopo kya Uganda Cup okuli:  (1985, 1990, 1991, 1994, 1995, 1997, 2001, 2003, 2006 ne 2007) era yakabeera ne basentebe 13.
 
Bano kuliko : Dr Barnabas Kunuka, Joseph Kiwanuka, Tucker Lwanga, Sam Njuba, Jimmy Mugambe, Patrick Kiwanuka, Vincent Bbale Mugera, Meddie Sebaggala, Godfrey Kirumira, Sam Kiwanuka, Francis Ntalazi ne Florence Nakiwala Kiyingi ate Hajj Hassan Bulwadda aliko kati
 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup