TOP

'Nja kubakubira McGregor addemu awolome'

By Musasi wa Bukedde

Added 27th March 2018

Mayweather, 41, yasemba okulabikako mu miguwa mu August w’omwaka oguwedde bwe yawangula Conor McGregor mu kikonde ekyali eky’akaasammeeme.

Floydmayweather 703x422

Mayweather ng'attunka ne McGregor

FLOYD Mayweather kafulu mu kukasuka eng’uumi avudde mu luwummula ng’awaga. Mayweather, 41, yasemba okulabikako mu miguwa mu August w’omwaka oguwedde bwe yawangula Conor McGregor mu kikonde ekyali eky’akaasammeeme.

McGregor, yali avudde mu kuzannya ekigwo ekizungu ekirimu okukuba ebikonde n’ensambaggere okwesogga ebikonde. Mayweather bwe yawummula, McGregor yamulemerako nti ayagala lulwana lwa kudding’ana alage Mayweather essomo ly’ataasobola kumulaga mu kusooka.

Bino biggye Mayweather mu luwummula, n’ategeeza nti naye agenda kutendekebwa omuzannyo guno ogulimu okukuba eng’uumi n’ensambaggere olwo alyoke attunke bulungi ne McGregor.

Mayweather asuubizza nti olulwana luno lwakubaawo ng’omwaka guno tegunnaggwaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hab2 220x290

Omuwendo gw'abatalina kabuyonjo...

Omuwendo gw'abatalina kabuyonjo gwelarikirizza abakulembeze mu Lwengo

Kib2 220x290

Akulira ensonga z'amaka e Matugga...

Akulira ensonga z'amaka e Matugga yennyamidde olw'obutabanguko mu maka

Kas1 220x290

Omutaka Kasirye Kyaddondo alabudde...

Omutaka Kasirye Kyaddondo alabudde abalwanira obukulembeze mu bika

Ko1 220x290

Leero kkooti lw'esalawo oba abali...

Leero kkooti lw'esalawo oba abali ku gw'okutta Suzan Magara basindikibwa mu kkooti enkulu

Lev1 220x290

Omuyimbi Abel Chungu Musuka mutaka...

Omuyimbi Abel Chungu Musuka okuva e Zambia ali mu ggwanga.