TOP
  • Home
  • Mupiira
  • ManU egula Vidal emusasula obukadde 854 buli wiiki.

ManU egula Vidal emusasula obukadde 854 buli wiiki.

By Musasi wa Bukedde

Added 28th March 2018

Vidal aweza emyaka 31 era endagaano ye ne Bayern ebuzaako omwaka gumu eggweeko. Kitunzi wa Fernando Felicevich owa Vidal y'omu n'owa Alexis Sanchez.

Arturovidal 703x422

Vidal

Amawulire agafa ku mupiira mu Chile, galaga nga ManU bwe yeesomye okugula Arturo Vidal okumuggya mu Bayern.

Jose Mourinho agitendeka agamba nti omuzannyi ono ajja kumukolera era yandisikra Marouane Fellaini ayinza okwabulira ManU ku nkomerero ya sizoni.

Vidal aweza emyaka 31 era endagaano ye ne Bayern ebuzaako omwaka gumu eggweeko. Kitunzi wa Fernando Felicevich owa Vidal y'omu n'owa Alexis Sanchez era abamu bagamba nti kye kyayanguyidde Mourinho okwagala okumugula.


ManU yeetegese okuwaayo obukadde bwa pawundi 42  obumugula bamuwe endagaano ya myaka ena nga bamusasula pawundi 240,000 buli wiiki (eza Uganda 854,400,000/).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olupapula 220x290

Luli Bukedde tubadde tumusomera...

ENSWA bw’ekyusa amaaso naawe okyusa envubo. Obulwadde bwa ssennyiga omukambwe bwe buwanise amatanga ono omusomi...

Pasitor 220x290

Pasita Namutebi naye akyusizza...

EMBEERA ya Corona buli omu emusaza ntotto naye n’abasumba b’abalokole nabo tebatudde.

Covidfinal 220x290

Ono ebya Corona kirabika yabitegedde...

OMUKULU ono oba ebiragiro bya Pulezidenti n’abeebyobulamu ku kwetangira obulwadde bwa ssennyiga omukabwe abitegeera...

Diamond 220x290

Maneja wa Platnumz awonye Corona...

SALLAM SK (ku kkono) nga ye maneja w’omuyimbi Diamond Platnumz (ku ddyo), awonye ekirwadde kya Coronavirus.

Mknwc1 220x290

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza...

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza bigere okuva e Ntebe okudda e Kamuli ne bbebi we: Yakomye Mukono n'alaajanira...