TOP

Eya Uganda ewangudde mu volleyball

By Musasi wa Bukedde

Added 29th March 2018

Nemostars yawangudde obugoba 25-20, 25-19, 25-13 ng’eri mu kibinja A omuli kiraabu okuli; Ahly (Misiri), Prisons (Kenya), Police (Ivory Coast), Espoir (COD), Redskin (Lesotho) nga kati ezzaako Police eya Ivory coast.

Nemostarsteam 703x422

abazannyi ba Nemostars

NEMOSTARS 3-0 Red Skins
NEMOSTARS abaakiikiridde Uganda mu mpaka za volleyball ez'abasajja eza Men’s African Volleyball Club Championship, beeriisizza nkuuli bwe baagudde ekiyiifuyiifu ku Red Skins eya Lesotho ne bagikuba enzannya zonna ssatu ku Lwokusatu e Cairo, empaka gye ziri


Nemostars yawangudde obugoba 25-20, 25-19, 25-13 ng’eri mu kibinja A omuli kiraabu okuli; Ahly (Misiri), Prisons (Kenya), Police (Ivory Coast), Espoir (COD),  Redskin (Lesotho) nga kati ezzaako Police eya Ivory coast.


Andrew Okapis omutendesi wa Nemostars agamba nti entandikwa ebawadde amannya lwakuba bakyalina olugendo lunene.


Abaakiikiridde Uganda abalala aba KAVC baakubiddwa Elgiesh eya Misiri ku nzannya 3-0 mu luzannya olwasoose wabula nga basuubira okweyubulira ku  Olympique eya Algeria mu luzannya oluddako.

Bya GERALD KIKULWE

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...

Newsengalogob 220x290

Lwaki abasajja abamu tebaagala...

LWAKI abasajja abamu tebaagala bakazi oba muwala aliko embuzi?

Lovelies 220x290

Ebisoomooza ku mitendera egy’enjawulo...

ABAMU basala magezi ga kubuvaamu, sso ng’oyo atannabufuna asiiba asaba n’okwegayirira Lugaba amufunire omutuufu....