TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Crested Cranes esunsudde abazannyi 28 abagenda okwetaba mu za Africa

Crested Cranes esunsudde abazannyi 28 abagenda okwetaba mu za Africa

By Musasi wa Bukedde

Added 1st April 2018

Crested Cranes esunsudde abazannyi 28 abagenda okwetaba mu za Africa

Lip1 703x422

Ttiimu ya Crested Cranes ng'eri mu kutendekebwa

Bya Gerrald Kikulwe

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira gw’ebigere mu bakyala (Crested Crane) Faridah Bulega akakasizza ng’enteekateeka z’abantu 28 bwe ziwedde okugenda e Kenya ku Ssande okuzannya  empaka z’okusunsulamu abaneetaba mu kikopo kya Africa.

Kino kiddiridde Crested Cranes okuwangula ttiimu ya UCU Lady Cardinals ggoolo 2-0 mu mupiira ogw'okwegezaamu ku lwokutaano mu kisaawe kya IUIU e Kabojja nga beetegekera okuzannya Harambee Starlets eya Kenya ku Lwokusatu nga March 4, mu Kibuga Machacos ekya Kenya ate baddingane ku Sande nga April 8, ku kisaawe kya Star Times e Lugogo okusunsulamu abaneetaba mu 2018 Africa Women Cup of Nations e Ghana mu November 17-1 December mwe beetaaga ttiimu 3 zokka okwetaba mu World Cup w’abakyala.

“Abazannyi bonna bali mu mbeera nnungi,tusitula ku Sande nga April 1, era nsuubiza ba nnayuganda nti tunona buwanguzi nga newankubadde Kenya eri waka naye ogwo gwe mukisa gwe tulina okukozesa ogw’okusooka okukyala,” Bulega bwe yanyonnyodde. Anaawangula wakati wa Crested Cranes ne Harambee Starlets w’akuzannya
Equatorial Guinea olw’anawangula yeesogge AFCON w’abakyala e Ghana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...