TOP

Aba Volley Ball beeriisa nkuuli

By Musasi wa Bukedde

Added 1st April 2018

Aba Volley Ball beeriisa nkuuli

Kop2 703x422

Bya Gerrard Kikulwe
 
TTIIMU za Volley ball ezagenze e Cairo okukiikirira Uganda mu mpaka z’abaami 2018 African  Volleyball club championship zeeriisa nkuuli bwe zaawangudde emipiira ebiri egyasoose ku lunaku olw’okusatu bukya mpaka zitandika nga March 27,2018.

Bannantameggwa ba Liigi ya Uganda Nemo Stars mu kibinja A baagudde ku Red Skins eya Lithoso ne bagikuba enzannya zonna ssatu(3-0), ne bakwata AS Police eya Ivory Coast ne bagiwangula enzannya 3-1 ate KAVC abawangula National Club Championship nga bali mu kibinja D b’akakkanye ku Wolaitta Dicha eya Ethiopia ne bagiggyako obuwanguzi bwabwe obusooka mu mpaka zino bwe b’agiwangudde ku nzannya 3-2.

Ebinja biri 4 nga buli kibinja kirimu ttiimu 6 naye batwalako bbiri
zokka ezikulembedde okwesogga oluzannya lwa Quarter okutuuka ku bbiri
ezinaazannya fayinolo nga April 5, 2018.
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata